TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Ekkanisa esabisa mu Luganda e Bungereza ejaguza emyaka 10 mu buweereza

Ekkanisa esabisa mu Luganda e Bungereza ejaguza emyaka 10 mu buweereza

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2017

Ekkanisa esabisa mu lulimi Oluganda , eya St. Jude and St. Aidan Thornton Heath e London ekya Bungereza ejaguzza okuweza emyaka 10 bukya etandikibwawo.

Kanisalondon6 703x422

Viika w’ekkanisa eno, Rev. Nathan Kasolo Ntege agamba nti ekkanisa y’Oluganda eno yatandikibwawo mu May 2007 oluvannyuma lw’okufuna olukusa okuva mu Kkanisa ya Bungereza (Church of England) okusaba mu nnimi enzaaliranwa mu nteekateeka eyitibwa “fresh expressions”.

Omugenyi omukulu yabadde Omulabirizi Graham Kings ng’ono y'akulira eby'okubunyisa enjiri mu nzikiriza eya Anglican.

Abayimbi ba kwaya nga balya mu ndago

Owookubiri okuva ku ddyo ye Mulanggira David Golooba , muganda wa Kabaka Mutebi abeera e Bungereza. 

Ono yabadde wamu n’Omulabirizi omubeezi Ow'Obulabirizi bwe Kampala, Bp. Hannington Mutebi.

Abalala kwabaddeko Ssabadinkoni w'e Croydon omuli ekkanisa eno, The Venerable Chris Skilton, omubaka wa Palamenti atwala ekitundu ekya Croydon North, Steve Reed wamu n’omubaka wa Ssaabasajja mu Bungereza ne Republic of Ireland, Oweek. Ronald Lutaaya.

Oluvannyuma lw'okusaba beekubisizza ekifaananyi ekyawamu
Abamu ku Bannayuganda abeetabye mu kusaba

Omubaka yawerekeddwaako abamyuka be omuli; omukungu Robert Mukiibi (North London), Enock Mayanja Kiyaga (Manchester) , Lakeeri Nabudde (East London) wamu n’abakungu abalala abakola mu ofiisi y’omubaka wa Ssaababajja e Bungereza.

Ekkanisa yafuna okutataaganyizibwa wakati wa June 2011 ne October 2014 oluvannyuma lwa omwawule Rev. Ntege okukubwa mu mbuga z’amateeka ng'avunaanibwa okugatta emigogo gy’abagole egissuka mu 400 mu mbaga ez’ebicupuli naye oluvannyuma omusango yaguwuuta buva kuba kyazuulibwa nga oludda olwamuwaabira lwawa obujulizi obw’obulimba era n'addizibwa ekkanisa.

Bishop Mutebi omulabirizi omubeezi owa Kampala diocess 

 

Mu kiseera ekyo ekkanisa yali eyambibwako abaweereza omuli; Ven. Dan Kajumba, Rev. Stephen Nshiimye, Rev. Dan Kaziro ne Ssabadikoni Chris Skilton. 

Omukolo gwakomekkerezeddwa n’okusala keeki wamu n’okunyeenya ku galiba enjole. 

 Rev. Nathan Ntege Kasolo, atwala ekkanisa eno mu Bungereza ng'ali ne mukazi we Elizabeth Ntege.

 Bishop Graham Kings, eyakulembeddemu okusaba ng'abuulira mu kkanisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja