TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe w'ekyalo Kalyamenvu mu Kyazanga akwatiddwa mu kikweketo

Ssentebe w'ekyalo Kalyamenvu mu Kyazanga akwatiddwa mu kikweketo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2017

Ssentebe w'ekyalo Kalyamenvu mu Kyazanga akwatiddwa mu kikweketo

Ge1 703x422

Abasilikale nga bakutte sentebe Kadaadi wakati

Bya Florence Tumupende

ABADDE ssentebe w'ekyalo Kalyamenvu akwatiddwa mu kikwekweto ky'abatuuze abatalina Kabuyonjo.

Sabiiti Kadaadi y'akwatiddwa mu kikwekweto oluvannyuma lwa ssentebe w'eggombolola y'ekyazanga Bahat Kayondo ng'ayambibwako Poliisi okukola ekikwekweto ku bantu abatalina kabuyonjo, obutandaalo, ebinnya by'akasasiro, ssaako n'abazadde abatannaba kuzza baana mu masomero.

 

Ekikwekweto kino kiyindidde mu byalo okuli Kalyamenvu A ne

B,Lwensabya A ne B awamu ne kyamusimba nga bino bisangibwa mu muluka gw’e Katuulo mu Ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti ey’e Lwengo.

Mu kikwekweto kino bakutte n’abaana 11 abasangiddwa awaka nga bali mukulima okubadde Faith Racheal 11,Fahima Nandugwa 12,Kasumba Brian 7,Steven Ssenkadiwa 9 n’abalala.

Bano bategeezezza nga bakadde baabwe bwe babagaanye okusoma olusoma lwa term eno nti tebalina sente zibaweerera nga n’abamu babadde bateekateeka kubafumbiza.

Bazadde b’abaana bano badduse oluvannyuma lw’okulaba nga bakutte abaana baabwe wabula abamu bamize omwoyo ne bagenda ku poliisi okukimayo abaana baabwe nabo ne babaggalira.

Ate amayumba agawerera ddala 50 gagaddwa lwa butatuukagana n’amutindo nga agamu gasangiddwa nga tegalina kabuyonjo nga n’amala gakutte mu mbinabina awamu n’obutaberako madirisa kye bagambye nti kyabulabe nnyo ku bulamu bw’abantu abagasulamu.

 

Wabula sentebe w’ekyalo kino yasoose kwetaba mu kikwekweto nga tamanyi nti n’abakulembeze b’okubitundu bakubalambulwa era kimubuseeko bwe bamutadde ku nninga abatwalamu kabuyonjo gy'akozesa ng’ono aliko ekinnya ky'abalaze ekibadde kibikiddwaako ekibaati nti ye kabuyonjo wabula n'abasaba bamusonyiwe ne bagaana


Sentebe Kayondo ategeezezza nga ekikwekweto kino bwe kikyagendera ddala mu maaso nga tekigenda kutaliza yadde omukulembeze  era nategeeza nga sentebe Kadaadi akwatiddwa bwagenda okuvunaanibwa mu bwenkanya kuba ye yandibadde eky’okulabirako eri abantu bakulembera.

Bo abatuuze bakomeredde sentebe waabwe akwatiddwa ennyondo nti bamusibe kuba yabaaviiriddeko endwadde olw’okumansanga empitambi buli wasanze.

Kayondo asabye abantu okukolera wamu n’ebekikwatako ba balopere abo abatalina kabuyonjo era nategeeza nga ekikwekweto bwekikyagendera ddala mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....