TOP
  • Home
  • Agawano
  • Amagye gagoba abantu 2,000 ku ttaka e Masaka

Amagye gagoba abantu 2,000 ku ttaka e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2017

ABATUUZE abasoba mu 2,000 ku byalo okuli Mutemante ne Mumpa mu disitulikiti y’e Masaka bali mu kusattira oluvannyuma lw’amagye aga UPDF agaateekebwawo Pulezidenti okulwanyisa envuba embi okuyisa ekiragiro okwamuka ku byalo bino bunnambiro.

Mbata 703x422

Kimuli (ku kkono) ng’ayogera eri abatuuze.

BYA PHIONA NANNYOMO

Ekiragiro kino ekitali mu buwandiike kyabaweereddwa amagye mu lukuhhaana lwe baakubye nga lugendereddwaamu okulwanyisa envuba embi ku myalo egisangibwa ku byalo bino.

Baaweereddwa ennaku ttaano zokka okwamuka ebyalo bino ebisangibwa mu ggombolola y’e Buwunga.

Mu kiseera kino abatuuze basobeddwa awaka ne mu kibira nga bagamba nti tebalina we balaga.

Bino olwagudde mu matu g’abakulembeze ba disitulikiti ne babiteekamu engatto ne boolekera emyalo gino okusala amagezi.

Ssentebe w’eggombolola y’e Buwunga, Francis Kimuli n’abakulembeze abalala baasoose kukuba lukuhhaana abatuuze ne bategeeza nti, ku myalo gino kwe bakulidde era bwe babalagira okusenguka tebamanyi gye bagenda kudda.

Bongeddeko nti ng’oggyeeko eky’okuba nga bakulidde ku myalo gino era babadde we baddukanyiza emirimu gyabwe omuli obuvubi, obulimi, obulunzi n’ebirala bingi.

Baagasseeko nti basula bakukunadde olw’okutya nti amagye essaawa yonna gabazingako olw’ennaku ze baabawadde nga zoolekedde okuggwaayo.

Ssentebe w’omwalo gw’e Mutemante, David Nsangani agambye nti bali mu kattu n’obunkenke obutagambika nga n’abatuuze be abamu tebalina bwe bayinza kuva ku myalo gino, olw’obuzibu bw’entambula nga balina kuyita ku mazzi nga bakozesa maato.

Baasabye Pulezidenti okuvaayo okubannyonnyola ensonga ebagobagannya ya ng'abagwira nga n’ebyalo kwe bagobaganyizibwa kwe bakulidde.

Wabula ssentebe Francis Kimuli asabye Gavumenti okuwola abavubi ensimbi ezigula obutimba obutuukana n’omutindo mu kuvuba kigiyambe mu kulwanyisa envuba embi mu kifo ky’okugobaganya abatuuze ku myalo gyabwe.

Kimuli era yayambalidde bannamagye abaaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okulwanyisa envuba embi nti bavudde ku mulamwa ogwabaleesa ne badda mu kugobaganya abantu ku byalo byabwe ky’agambye nti kikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans