TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Abatujju bakubye Palamenti ne batta ababaka 12 e Iran

Abatujju bakubye Palamenti ne batta ababaka 12 e Iran

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2017

ABATUJJU bana baayingidde Palamenti ya Iran ne basasira ababaka abaabaddemu amasasi ne battako 12 ate abalala abasoba mu 40 ne bagendera ku bisago.

4131dc3a000005784579806imagea1481496841998737 703x422

Kyategeezeddwa nti abatujju bano baalumbye Palamenti eno mu kibuga ekikulu Tehran nga bayita mu mulyango ogw’olukale nga bambadde ng’abakyala era tewali yabafuddeko ne bazingiramu n’ekifo ekyabbulwamu omukulembeze waabwe, Ayatollah Khomeini.

Ng’abatujju bamaze okwesogga ekizimbe kya Palamenti, baasoose kwagala kuwamba abaabaddemu olwo olutalo ne lutandika amasasi ne ganyooka okumala essaawa musanvu mulamba.