TOP
  • Home
  • Agawano
  • Omulamuzi alidde mu ttama! Alagidde Gavt. okuliyirira omusibe eyatulugunyizibwa obukadde 200

Omulamuzi alidde mu ttama! Alagidde Gavt. okuliyirira omusibe eyatulugunyizibwa obukadde 200

By Henry Nsubuga

Added 9th June 2017

Omulamuzi alagidde gavumenti eriyirire obukadde 200 omusibe eyatulugunyizibwa mu kkomera e Kitalya n’amenyeka enkizi.

Mkntorture1 703x422

Abazirakisa nga basitudde Muloki okumuggya mu kkooti bamutwale mu ambulensi eyamututte mu ddwaliro.

Omulamuzi alagidde gavumenti eriyirire obukadde 200 omusibe eyatulugunyizibwa mu kkomera e Kitalya n’amenyeka enkizi.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono, Margaret Mutonyi alagidde gavumenti okuliyirira omusibe eyatulugunyizibwa mu kkomera lyayo omusirikale bwe yamukuba n’amumenya enkizi.

Henry Mulooki (25) eyali omutuuze w’e Buvuma mu ggombolola y’e Busamuzi yasindikibwa ku limanda mu kkomera e Luzira mu mwaka gwa 2012 nga yali avunaanibwa omusango gw’okuwasa omuwala ow’emyaka 13.

 uloki nga bamusibidde ku katanda mu ambulensi ya ukono hurch of ganda hospital eyamututte e ulago Muloki nga bamusibidde ku katanda mu ambulensi ya Mukono Church of Uganda hospital eyamututte e Mulago.

Mulooki yatwalibwa mu kkomera e Kitalya erisangibwa ku luguudo lw’e Mityana kyokka ng’ali eno mu mwaka gwa 2014 omusirikale ategeerekeseeko erya Otim yamukuba n’amumenya enkizi.

Looya wa Mulooki nga ye Emmanuel Turwomwe yategeezezza kkooti nti Otim yamukuba bwe baali balima mu nnimiro n’agezaako okunuula kasooli n’amukweka mu mugongo.

Mulooki ategeezezza kkooti nti yaggyibwa mu kkomera e Kitalya n’atwalibwa e Luzira mu ddwaliro lya Murchison Bay gy’amaze emyaka 2 ng’ajjanjabibwa.

bazirakisa nga basitudde uloki okumuggya mu kkooti bamutwale mu ambulensi eyamututte mu ddwaliroAbazirakisa nga basitudde Muloki okumuggya mu kkooti bamutwale mu ambulensi eyamututte mu ddwaliro

Ng’attulukusa n’amaziga, Mulooki yakkirizza omusango kyokka n’alaga okunyolwa olw’obuvune obwamutuusibwako mu kkomera nga mu kiseera kino okuva mu kiwato okudda wansi ku bigere waasannyalala talina kyawulira.

“Nnina obulumi ku mutima okulaba nga ntuuse okufa nga ssizadde ku mwana olw’obuvune obwantuusibwako!,” Mulooki bwe yategeezezza nga n’amaziga gamuttulukuka.

Ng’awa ensala ye, omulamuzi Mutonyi yagambye nti kkooti ekizudde nti Mulooki mu kkomera yatwalibwayo nga mulamu bulungi naye n’atulugunyizibwa omukuumi w’ekkomera Otim ekyamuleetako obulemu obw’enkalakkalira.

 uloki eyakubibwa mu kkomera e italya ne bamumenya enkizi nga yeebase mu kkooti e ukono Muloki eyakubibwa mu kkomera e Kitalya ne bamumenya enkizi nga yeebase mu kkooti e Mukono.

“Mmusalidde ekibonerezo kyakusibwa emyaka ena n’ekitundu nga lye bbanga ly’amaze ku limandi era ateebwe mbagirawo. Gavumenti ngiragidde okuwa Mulooki obujjanjabi obusaanidde mu ddwaaliro e Mulago.

Gavumenti erina okusasula Mulooki obukadde bw’ensimbi 200 olw’obulumi bw’ayiseemu, okutulugunyizibwa n’okubonyaabonyezebwa bwe yali mu kkomera era mu mikono gya gavumenti, ” omulamuzi bwe yasaze omusango.

Mulooki yateekeddwa mu ambulensi y’eddwaliro lya Mukono Church of Uganda n’atwalibwa mu ddwaliro e Mulago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sud1 220x290

Abaliko obulemu babagabudde ebya...

Abaliko obulemu babagabudde ebya ssava bya Ssekukkulu

Sub1 220x290

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi...

Allan Okello awangudde eky'obuzannyi bw'omwaka n'aweebwa Subaru empya ttuku

Tysonfury 220x290

Tyson Fury si waakuzannya Anthony...

Fury agenda kudding'ana ne Deontay Wilder mu February w'omwaka ogujja.

Parma 220x290

ManU etunuulidde musaayimuto wa...

ManU ekyayigga bazannyi banaagizza ku maapu sizoni ejja. Mu kiseera kino eri mu kyamukaaga ku bubonero 24.

2018wolvesceleb32 220x290

Arsenal esabye Wolves olukusa eyogere...

Nuno Espirito yatendekako Valencia eya Spain, FC Porto ne Rio Ave ez'e Portugal nga tanneegatta ku Wolves.