TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusika wa Kasiwukira bamugguddeko omusango gw'okutiisa okutta omuntu

Omusika wa Kasiwukira bamugguddeko omusango gw'okutiisa okutta omuntu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2017

HERON Mpoza, omusika wa Kasiwukira naye bamututte ku poliisi ku misango gy’okutiisatiisa okutuusa obulabe ku muntu.

Mpa 703x422

Mpoza

Silver Habimana omu ku baali abajulizi mu musango gwa Nabikolo ye yatutte Mpoza ku poliisi y’e Kabalagala oluvannyuma lw’okumutiisatiisa okumutuusaako obulabe n'aggulawo omusango ku fayiro SD 38/06/06/2017.

Habimana yagambye nti, Mpoza yatandika ku Lwakubiri okumutiisatiisa oluvannyuma lw’okusanga ng’asimbye mmotoka ye ekika kya Ipsum ku Supermarket ya TMT ku kkubo eridda e Muyenga. Yagambye nti, w'asimba waali wa Kasiwukira kyokka ne baguzaawo Abayindi ne bateekawo 'supermarket' era we wali siteegi we yali avugira bodaboda nga tannaba kugula mmotoka.

Bwe yagula emmotoka, yasigala w'akolera nti kyokka Mpoza yamulumbye n'amugamba aggyewo mmotoka ye oba sikyo agenda kugitwala.

Yagasseeko nti ye musajja munaku alina abaana ate mmotoka nnyingi ezisimba mu kifo w'akolera ng'era bazisimba ku mabbali g’ekkubo tamanyi nsonga lwaki Mpoza amukijjanya.

“Omusajja yahhambye emmotoka yange agenda kugitwala nange kwe kuddukira ku poliisi neekubire enduulu kubanga we nkolera si y'alina okunzigyawo, KCCA y'evunaanyizibwawo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...