TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'oluganda bekyanze ne basanyaawo ebirime by'omusika waabwe.

Ab'oluganda bekyanze ne basanyaawo ebirime by'omusika waabwe.

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2017

Ab'oluganda bekyanze ne basanyaawo ebirime by'omusika waabwe.

Kal1 703x422

Kiweewa ku kkono ngalaga engeri omusiri gw'emwanyi ne kalittunsi ebisaanyiziddwaawo

ABOOLUGANDA beekobaanye ne sentebe w’ekyalo Dick Kateregga ne batemaatema ebirime by’omusika wa famire okuli emwaanyi ne kalitunsi nga bino bibadde ku ttaka eriweza yiika bbiri.

Bino bibadde ku kyalo Kiryankuyege mu muluka gw’e
Kabalungi mu disitulikiti ey’e Lwengo.

Umar Kiweewa omusika wa famire ategeezezza nga bwe yasikira
kitaawe lubuulwa Bbiru mu ,mwaka gwa 1997 wano ab’ekika ne babagabanyiza ebintu era ekibanja okuli ennyumba ne babimukwasa wabula kimukubye wala ng’abamugabanyiza ebintu bino ate be bakomyewo ne babisanyaawo.

Kino akitadde ku buggya bw'abenganda abalabye nga agenda ku
bayitako mu by’enfuna kwe kusalawo bamukomye kuba baali basuubira nti ebintu ebimukwasiddwa agenda ku bitunda butunzi.

Kiweewa agambye nti emwaanyi ne kalittunsi bye basaanyizaawo
bibalibwa mu bukadde 45 nga mu kiseera kino tamanyi wagenda kuggya nsimbi ezokulabiriramu bagandabe abakyasoma.

Anokodeyo mukulu we Molly Nassiwa ne Dagarous Lubuulwa abaleese ekibinja ky’abantu nga kwekuli ne sentebe w’ekyalo kino ne basanyaawo ebirime bye byonna byabadde ataddemu ensimbi ssaako n’amanyi.

Kigambibwa nti mu kiseera we basanyizaawo ebintu bino Kiweewa
abadde taliiwo ng’agenze mu kabuga k’embiriizi wabula n'afuna essimu okuva ew'omuzira kisa n'amubagulizaako nti baganda be basanyizzaawo ennimiri ye.

Yafunye akaseera akazibu okutwala omusango mu kakiiko k’ekyalo kuba ne sentebe yennyini yabadde yennyigidde mu kikolwa ky’okutema ebirime nga yewaana nga bwafunye olukusa okuva ewa RDC Harriet Nakamya nti yabalagidde babisanyeewo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...