TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyafera ensimbi nadduka bamuzudde mu Bukedda ng'awerennemba na misango mirala

Eyafera ensimbi nadduka bamuzudde mu Bukedda ng'awerennemba na misango mirala

By Musasi wa Bukedde

Added 13th June 2017

Eyafera ensimbi nadduka bamuzudde mu Bukedda ng'awerennemba na misango mirala

Kamu1 703x422

sula nga akutte olupapula lwa Bukedde mweyalabira Med gw'abade anoonya.

Bya Stephen Kiragga

OMUSAJJA aludde ng'anoonya omuntu eyamufera amuzudde mu lupapula lwa Bukedde nga alina emisango gy'awerennemba nagyo mu kkooti y’e Nabweru.

Sula Kikonyogo (28) nga mutuuze w’e Kasana Luweero agenze ku poliisi ye Nabweru naggula omusango ku Muhammad Ssemakula (omusibe) nga amulanga okumutwalako ssente mungeri y’olukujjukujju  ng'amusuubizza okumutwala mu Saudi Arabia okukola obwa Dereeva.

Sula agamba nti mu December 2015,yatandika okugoba ku mpapula ze okusobola okugenda okunoonya ssente era baamulagirira omwami Med nti yagenda okumuyambako we ng'ayita mu kampuni ya Ham Property Services era ne bamusaba obukadde3 okumugobera ku lugendo lwe.

Ono bweyatuukirira Med n'atandika okumuwa ssente kyoka nga buli lw'amusaba receipt amubuzaabuza nga agamba nti asaanidde okumwesiga okumutwala e buwalabu okukola obwa dereeva asobole okugaggawala.

Agamba nti buli lwe yagendanga okubuuza watuuse nga bamugamba nga bwalina okufuna ebbaluwa z'abasawo abenjawulo naye nga tewali kigenda mu maaso nga ne bwakuba essimu tagikwata.

“Bwennatuuka ku kampuni ne bangamba nti erinnya lyange telili ku lukalala lwabo abagenda kuba ssente ze nnawaayo tebaazifuna mu buwandiike era nga tasobola kugenda nabo kuba talina bisanyiizo era nga alina okunoonya Med gwe yakwaasa ssente zinno”

Wabula y’e Ssemakula Med avunaanwa yakwatibwa poliisi n'asindikibwa e Luzira ku misango gy’okusobya ku muwala na musiiga siriimu bwe yali amusuubizza okumugobera ku mpapula z’okumutwala munsi za buwalabu.

Sula agamba nti lumu nga aguze olupapula lwa Bukedde yasoma eggulire nga liraga nti Med yakwatibwa era awerennemba n’emisango g’okusobya ku muwala mu kkooti y’e Nabweru era kwe kusalawo okwetukira akakase oba Med gwanoonya yali mu kaguli ka kkooti.

Ono yatutte olupapula luno olwafuluma nga 26/05/2017 okukakasa nti omusajja eyamufera yakwatiwa era n'aggulawo omusango ku fayilo nnamba.SD 09/10/06/17.

Sula agamba nti abenganda abaamuwola ssente zino baamukyawa era nga bangi balowooza nti yabba ssente zino kuba yali amaze n’okubasibuula nga bw'agenda ebweru okukola asobole okuzza ssente ze baamuwola.

Ono yasiimye nyo Bukedde olw’okumuyamba n’efulumya omusajja gwa maze omwaka mulamba ng'anoonya era n'asaba bonna abaaferebwa Med okugya okumweyungako okulwanirira obwenkanya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....