TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owa DP avudde mu lwokaano lw'akalulu ka Kyadondo East

Owa DP avudde mu lwokaano lw'akalulu ka Kyadondo East

By Muwanga Kakooza

Added 13th June 2017

DP eggye omuntu waayo Lilian Babirye Kamome mu lwokaano lw’okuddamu okulonda omubaka wa Kyadondo East mu Palamenti ng’egamba nti okuvuganya okw’amaanyi okuliwo mu b’oludda oluvuganya gavumenti kuyinza okuletera NRM okuwangula ekifo kino.

Kamo2 703x422

Pulezidenti wa DP Mao ng’ayogera. Amuddiridde ye munnamawulire we Fred Mwesigwa. Ku ddyo ye Lilian Babirye Kamome avudde mu lwokaano. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

Pulezidenti wa DP Nobert Mao ategeezezza bannamawulire mu Kampala nti DP erindiridde enkambi y’avuganya yonna kasita teba NRM  enaagituukirira gy’egenda okuwagira.            

Abavuganya kuliko; Apolo Katinti (FDC), omuyimbi Robert Ssentamu Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi wine’ (talina kibiina), Sitenda Ssebalu (NRM), Sowedi Kayongo (talina kibiina), Nkunnyingi Muwada (talina kibiina) ne  Edward Kasasa (talina kibiina).

Besigye ali mabega wa Katinti owa FDC kyokka agamba Bobi Wine bw’anaayitamu ajja kukolagana naye.

Bino byonna biddiridde kkooti okusazaamu abadde omubaka w’ekitundu kino Apolo Katinti ng’egamba nti okulonda okwamutwala mu Palamenti kwalimu obuvuyo era n’eragira kuddibwemu.

Mao agambye nti : ‘’Okuvuganya okw’amaanyi okuli mu Kyadondo East kuli mu baaludda luwagira nkyukakyuka (lutawagira NRM)  era DP erina okutya nti okuneneng'ana okutandiseewo kuyinza okuleetera NRM okutulya akalulu.

" Abakulembeze ba DP tutudde ne tusalawo okuggya omuntu waffe Lilian Babirye Kamome mu lwokaano. Era ababadde bamukubira kampeyini bagenda kunnyonnyola abawagizi be,’’ Mao bw'ayongeddeko..

Ategeezezza nti mu kulonda okwatwala Katinti mu Palamenti, okuvuganya kwali kwa maanyi wakati wa NRM ne FDC Kantinti yasinga Sitenda obululu nga 300 bwokka.

Nga kino kitegeeza nti ab’oludda oluvuganya Gavumenti bwe badda mu kuyuzaayuza obululu ayinza okubalya.            

Ng’ate okuwangula kwa NRM kugenda kwongera okusanyalaza ab’oludda oluvuganya.

Ategeezezza nti DP erudde ng’ekubiriza abantu okwegatta n’okukolera awamu era guno ssi gwe gusoose kwe kutegeeza ng’ekibiina bwe kyakolaganako ne UPC mu kulonda kwa 1996, ne kikolaganako n’abaava mu nsiko, wamu n’okukolagana n’abadduka mu NRM nga Besigye ne Amama Mbabazi byonna bya bikolebwa kuba ng’ensi etuuke ku demokulase owa nnamaddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....