TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Agambibwa okusaddaako omwana we Poliisi emukutte

Agambibwa okusaddaako omwana we Poliisi emukutte

By Moses Lemisa

Added 13th June 2017

Agambibwa okusaddaako omwana we Poliisi emukutte

Sad1 703x422

Omwana eyasaddaakiddwa

POLIISI ekutte omusajja agambibwa okubeera mu lukwe lw'okusaddaaka omwana we ow'emyaka omukaaga amanyiddwanga Muyita abadde asomero mu ssomero lya Mirembe Junior School erisangibwa e Kawempe Ddokolo.

Isan Muyita okukwatibwa kiddiridde okugenda ku ssomero naanonayo omwana okumuzza eka ate n'amukomya mu kkubo awo abantu abatannategeerekeka we baamuwambira ne bamubuuzaawo abasomesa baamukubira ne bamubuuza lwaki omwana teyasomye n'abaddamu n'abategeeza nti yamututte n'amukomya mu kkubo.

 Muyita agambibwa okubeera mu lukwe olw'okusaddaako omwana we

Junior School erisangibwa mu Kawempe mu Kiddokolo  ne bamugalira era Omulambo gw’omwana gwazuliddwa abayizi b’essomero erimu e Mayuge nga guli mu bikajjo nga we baagulabidde embwa zabaadde zaagulyako ebigere nga bano be baatemezza ku poliisi ye Mayuge n’ekwatagana ne ye Kawempe omwana yazikiddwa Igobe mu disitulikiti ye Iganga  ku Sande kwenyini kuba yabadde atandiise okuvunda , abazigu omwana baamusazeko omutwe n’ebitundu bye ebyekyama

AMAAMA AYOGEDDE
Aisha Nangoobi 24: Muyita mbadde mulinamu abaana basatu kati basigadde babiri nga tumaze naye emyaka mukaaga mu bufumbo , wabula  omwana eyafudde Muyita amwegeezezzaamu efunda eziwera ng’ayagala okubaako gy'amutwala wabadde tayagala ku mbuulira nga mukyala we

Muyita ng’omwana tannabula yasoose kusiimuula bifaananyi byonna  eby’abaana n’ebyange mu ssimu ssaako n’okuwanulayo byonna eby’abaadde munju n'abitwala gye sategedde

MUYITA AYOGEDDE
Isa  Muyita  taata w’omwana : Banange sirina kye mmanyi ku nfa
y’omwana wange era tetubadde  nabuzibu na mukyala wange , omwana nze mbadde nkeera ne mwambaza ne mutwala ku ssomero wabula ku Lwokubiri bakama bange baali bannetaaga mu budde kye kyanvirako omwana obumutuusa ku
ssomero , era nsaba poliisi ekole ekisoboka enoonyereze abaasaddaasse omwana wange ekirala ekinnumye kwekuziika omwana wange nga ndi mukkomera .

OMWOGEZI wa poliisi mu kampala n’emiraano Emilian Kayima ategeezezza nti kituufu Muyita poliisi yamukutte  oluvannyuma lw’okukizuula nti alina ky’amanyi ku kufa kw’omwana we , agasseko n’asaba abazadde okulondoola abaana baabwe gye bazannyira n’okukakasa nti batuuse ku massomero .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...