TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mmengo esabye abaggala ebyuma by'emmwaanyi e Buddu biggulwewo

Mmengo esabye abaggala ebyuma by'emmwaanyi e Buddu biggulwewo

By Dickson Kulumba

Added 13th June 2017

Mmengo esabye abaggala ebyuma by'emmwaanyi e Buddu biggulwewo

Bug1 703x422

MMENGO  esabye abakwatibwako e Masaka okugonjoola ensonga y’okuggalibwa kw’ebyuma by’emmwaanyi kuba kino kyolekedde okufiiriza abalimi ate n’okutta kaweefube w’okutumbula obulimi Obwakabaka gwe buliko.

Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki yeyawadde obubaka n'ategeza nti “ Ensonga y’okuggala ebyuma by’emmwaanyi yetaaga okwongera okutunulamu kuba kitandise okunyigiriza abalimi mu mbeera zonna ez’obulamu.

Tulaba nti enkola eno ebeera etta omutima gw’abantu okusimba emmwaanyi ng’ate emu ku nteekateeka y’Obwakabaka okulaba ng’emmwaanyi zibunyizibwa.”

Bino Kawuki yabyogedde asisinkanye Bannabuddu okuva mu ggombolola ya Ssabawaali Kabonera mu ssaza ly’e Buddu abaakise e Mmengo okuleeta oluwalo lwabwe olw’ensimbi 1,200,000/-  nasomooza abakulu ba zi disitulikiti ez’enjawulo abaganidde mu bizimbe by’Obwakabaka nebakonzibya emirimu gy’abaami ba Kabaka.

Omumyuka asooka owa Pookino, Mwalimu Abdallah Kato Kasule nga yeyakulembeddemu bano ategeezezza nti bali mu kwewuunya  kuba abaggala ebyuma by’emmwaanyi bagamba nti  abalimi banoga emmwaanyi ento naye ate bagadde byuma ebikuba emmwaanyi, ebintu ebitakwatagana.

Abdallah Kato agambye nti “ Kati abalina emmwaanyi tebakyalina webazikubira kuba n’abasuubuzi abazigula baagala kasse. Kino kireetedde abantu obwavu kati mwezi mulamba kyokka olaba n’amaggombolola okuli Nabigasa, Bigasa n’amalala gaasabye galeete oluwalo lwago olulala ng’embeera eteredde.”

Okuggalibwa kw’ebyuma by’emmwaanyi e Buddu kweralikiriza abantu mu kitundu kino kuba bangi ensimbi bazifuna mu kirime kino era nga basaba aba Uganda Coffe Development Authority (UCDA) okubiggula kubanga si bonna nti banoga emmwanyi ento.

Ye Omwami w’eggombolola ya Ssabawaali Kabonera, Francis Kiyimba yasabye Mmengo eyongere okwenyigiza abaami mu nsonga z’okulabirira ettaka lya Kabaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...

Whatsappimage20200402at65210pm 220x290

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire...

Bajjo ayagala Full-Figure amuliyirire obukadde 500 lwa kumwonoonera linnya.

Ministernakiwalakiyingi 220x290

Coronavirus: Baminisita 3 bayomba...

Olutalo olugambibwa okuba wakati wa baminisita basatu nga luva ku ssennyiga wa coronavirus luvuddeyo mu lujjudde...