TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukubi wa bbulooka n’aganza omuwala w’essomero ate Poliisi n’esibamu kitaawe!

Omukubi wa bbulooka n’aganza omuwala w’essomero ate Poliisi n’esibamu kitaawe!

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2017

Kyatwala emyezi ebiri nga nneegayirira aba poliisi bannyambe naye beerema okutuusa lwe nneevaamu ne nkwata emitwalo ebiri ne ngiwa omu ku bapoliisi n’ampa owa LDU gwe nategeerako erya Kato ne ‘Crime preventer’ gwe baayitanga Kkooci ne tugenda ku ssaawa nga ttaano ez'ekiro.

Luwedde1 703x422

Ronald Busuulwa ne Aisha Luwedde nga bapepeya. Luwedde kati alina emyaka 17.

RONALD Busuulwa yakabawaza Aisha Luwedde mu 2014 nga wa myaka 14 gyokka.

Kitaawe w'omwana Omulangira Dalawusi Kanakulya bwe yaloopa omusango ku poliisi, aba poliisi baasalawo okudda ku ludda lwa Busuulwa ne basibamu kitaawe w’omwana nga kwe batadde n’okumukuba ennyo n’azirika olunaku lulamba.

Kalondoozi wa Bukedde alaze obutali bwenkanya mu musango guno.

SSAALONGO Kanakulya yalwanirira ensi eno, era yali kadogo mu lutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM mu buyinza.

Agamba nti emyaka esatu egiyise, poliisi y’e Namungoona eyali ekulemberwa Grace Nyangoma (kati yazzibwa ku y’e Kampalamukadde) baamussaako omusango gw’okufumbiza omwana we atanneetuuka eri Busuulwa kyokka Busuulwa ne bamuta poliisi n’esibamu ye.

Ng’oggyeeko okumusiba, Kanakulya baamukuba nga omubbi n’azirika olunaku lulamba kyokka nti ne bamutwala mu kkooti nga tannadda ngulu!

Ate n’abeekitongole ekikwasisa empisa mu baserikale ekya PSU, Kanakulya gye yaloopa mu kifo ky’okumuyamba agamba nti beekobaana ne poliisi y'e Namungoona ne bongera okumutulugunya.

 saalongo anakulya muwala we uwedde atudde ne nnyina womwana Ssaalongo Kanakulya, muwala we Luwedde (atudde) ne nnyina w’omwana.

 

SSAALONGO KANAKULYA

Aisha Luwedde twali tubeera naye e Namungoona mu zooni ya Kigobe mu 2014. Yali wa myaka 14 era ng’asoma mu Namungoona Orthodox P/S mu P.3.

Nga October 4 2014, Luwedde teyadda waka kuva ku ssomero. Nagenda ku poliisi y’e Namungoona nzigulewo omusango gw'okubula kw'omwana wange ku fayiro nnamba SD05/04/10/14.

Twanoonya omwana buli we twali tusuubira n’atubula.

Oluvanyuma lwa wiiki ssatu, Luwedde yakomawo eka, namubuuza gye yali ebbanga eryo lyonna n’angamba nti yali abeera ne Busuulwa, omuvubuka eyali akuba bbulooka okuliraana we nali mbeera.

Wabula yakomawo n'ebinuubule, bwe twamubuuza ekyali kimutuuseeko yagamba bodaboda yamukuba ekigwo!

Nga tetunnagenda mu ddwaaliro, omuwala namugamba asooke antwale ewa Busuulwa gy’agamba gy’abadde abeera era yantwalawo.

Busuulwa twamusangayo, bwe namubuuza kye yali akola ne muwala wange yamwegaana nti ye tabeerangako naye.

Namutwala mu ddwaaliro lya Namungooma Orthodox Medical Centre kyokka Busuulwa yajja atuvaako emabega.

Olwamala okufuna obujjanjabi namutwala ku poliisi okubategeeza ng’omuwala bwe yali alabise.

Aba poliisi nabagamba omwana gy’abadde ne beewuunya. Busuulwa eyali atugoberera olwalaba nga tugenze ku poliisi, yadduka buddusi.

Olwadda eka omwana yamalawo ennaku bbiri n’addamu n'abula.

Olw'okuba nali ntegedde we yali abeera' nagenda ku poliisi ne mbasaba bampe abaserikale tugende tukwate abaana wabula ne nnemesebwa olw’okunsaba ssente ze saalina.

Kyatwala emyezi ebiri nga nneegayirira aba poliisi bannyambe naye beerema okutuusa lwe nneevaamu ne nkwata emitwalo ebiri ne ngiwa omu ku bapoliisi n’ampa owa LDU gwe nategeerako erya Kato ne ‘Crime preventer’ gwe baayitanga Kkooci ne tugenda ku ssaawa nga ttaano ez'ekiro.

Ewa Busuulwa mu Namungoona Zooni 1, twasanga bali bwereere wabula ekyanneewuunyisa omu yeekanga n’agamba nti, " Eee! Busuulwa tetwategedde nti tuzze kukwata ggwe naye tofaayo ojja kuvaayo kubanga kitaawo amanyikiddwa!".

Olwabatuusa ku poliisi e Namungoona, baabateeka emabega wa kawunta.

Waliwo omuserikale Mugabi gwe nasaba ampe omwana wange nzireyo naye mmukomyewo enkeera kubanga abaali ku poliisi bonna baali basajja ate ng’obudde bwa kiro wabula n'agaana nange ne mmulekawo.

Nakeera nnyo okudda ku poliisi nasanga owa poliisi Mugabi ali ne muwala wange emmanju wa poliisi bayimiridde ku kisenge!

Olwo owapoliisi kwe kundagira nkole sitaatimenti naye yandaalika okunsiba, namubuuza ekinsibya teyampa nsonga!

Owapoliisi oyo Mugabi ye yanzigyako sitaatimenti wakati mu kukaayana kubanga ebintu bye nali mmugamba nga si by’awandiika.

Twali tukyakaayana, eyali akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango ku poliisi eno gwe nategeerako erya Ojambo yajja, Mugabi baamuzza ebbali n’abaako by’amugamba bye saawulira.

Bansaba emitwalo ebiri batwale omuwala n'omulenzi mu ddwaaliro bakeberebwe era ne nzibawa. Nange nabeesibako era twagenda ffenna e Mulago.

Omusawo yakebera omwana n’asanga nga babadde bamukozesa. Ebyava mu kukebera yabikwasa Mugabi naye twamala ebbanga erisoba mu ssaawa nnamba ng’akukuta n'ebbaluwa z'omusawo mu ddwaaliro.

 race yangoma anakulya gwalumiriza okuvuluga omusango gwe Grace Nyangoma, Kanakulya gw’alumiriza okuvuluga omusango gwe.

 

Olwamaliriza eby’eddwaaliro omwana baamukkiriza n’adda eka, Busuulwa ne bamusigaza.

Nga tutuuse eka, Luwedde yakantema nga bwe batajja kusiba mulenzi we kubanga olukwe lw'okumuta lwali lukoleddwa kiro!

Omwana yankakasa nga ye bw’ataasula na mu kkomera era akimanyi nti bba bajja kumuta, nga bamugambye alemereko agambe abantu nti aweza emyaka 18.

Yanzibirako nti baali bamulagidde ajje ankoleko effujjo mmukube olwo bafune we banansibira.

Grace Nyangoma, (ku ddyo) Kanakulya
gw’alumiriza okuvuluga omusango gwe.

Mba sikyabitegeera, nga wayise wiiki bbiri bukya bakwata Busuulwa, omukazi omu n’ankubira essimu ng’angamba nti ye maama wa Busuulwa, yali ayagala tusisinkane tuteese kubanga fayiro yali evudde ew'omuwaabi wa Gavumenti ng’eragira bansibe.

Enkeera yajja ewange ng’ayagala ampe emitwalo 70 ebintu biggwe nti bwe nnemerako nali nja kusibwa nga sirina kye nfunyeemu.

Ne taata w'omulenzi gwe mmanyiiko erya Male naye yagezaako okunsendasenda nzikirize emitwalo 70 biggwe.

Nagaana era ne mmugamba nga bwe nali siyinza kuteesa ku by’omwana atanneetuuka ate nga n'omusango gwa Gavumenti. Ojambo eyali akulira bambega ku poliisi y’e Namungoona yajja ewange n’ampita ku poliisi bambuulire ebyali biri ku fayiro.

Bwe nagatta omwana bye yali angambye ne maama w'omulenzi, nafunamu okutya kubanga tewaliiwo nsonga yali esitula Ojambo, akulira bambega omulamba okujja ewange nga yali asobola okukuba ssimu.

Bwe nagaana okugenda naye ku poliisi, mu kaseera katono abasajja abalala bajja ne banvumbagira, ne mbeesimattulako ne nneggalira mu nnyumba.

Baasamba oluggi ne balumenya olwo ne bankwata. Bampisa bubi nnyo ne bankasuka ku kabangali nga bwe bankuba ng’omubbi.

Baali bantwala omu ku basirikale n’ansamba mu kifuba, naddamu kutegeera nga ndi ku kitanda e Mulago!

Nakimanya luvannyuma, mu January wa 2015 lwe bantwala mu kkooti e Nabweru nga nzirise nti omulamuzi yabatabukira olw'embeera gye nalimu kwe kunsuula e Mulago.

Eno gye nategeerera nti aba poliisi baali bakintaddeko nti nze nali ngabye omwana ewa Busuulwa era ne banzigulako ogw'okwekobaana mu musango gw'okujjula ebitayidde!

Bino byonna byakolebwa nga mukyala wange ali bubi nga sirina muntu annyamba era e Mulago navaayo nzekka kyokka nga nnumizibwa era omuzirakisa ye yantuusa awaka.

Oluvannyuma ng’abapoliisi bapanga obujulizi obunnuma, Luwedde yajja eka n’abbayo muto we Hadijja Nakamaanya n’amutwala ku poliisi.

Abaana bwe bantegeeza nadduka ne ngenda ku poliisi, nasanga bali ne Busuulwa n’owa poliisi Mugabi ng’amuggyako sitaatimenti, bwe nababuuza Mugabi yalagira owemmundu banzigyewo ku mpaka.

 

Omwana Nakamaanya bamukozesa sitaatimenti egamba nti nze nagaba Luwedde ewa Busuulwa kyokka ekiseera ekyo Nakamaanya yalina emyaka 12 gyokka.

Ekyebuuzibwa nti lwaki kyali kyetaagisa omwana kumubba bubbi okuva mu maka gange!

Olwafuna olungubanguba, ne ngenda mu kitongole ekikwasisa abaserikale empisa edkya PSU ndoope abaserikale bano.

Omusango guli ku fayiro CEF 132/2015, bankwasa ofiisa Jackie Kizza wabula eno namala bya mu bulago.

Ofiisa mu kifo ky’okunnyamba ayinza okuba yeekobaana ne Nyangoma ne banne ku poliisi e Namungooma ne bongera okuntulugunya.

Bankwata ne bantwala ku poliisi e Kawaala nga bwe bagamba nti bagenda kundaga nti owa poliisi tawawaabirwa.

Bansuza mu kaduukulu enkeera ne bantwala mu kkooti e Nabweru.

Omulamuzi gwe nategeerako erya Muhamad yansindika mu kkomera e Kasangati okutuusa lwe nneekubira enduulu ewa DPP ne mu kitongole ekiramuzi omulamuzi ne bamukyusa ne baleeta Elias Kakooza eyagugoba nga April 4, 2016.

Essaawa ya leero muwala wange Busuulwa yamuzaalamu omwana, eky’ennaku na kati tannaweza myaka 18.

Sirina mulimu gwa maanyi gwe nnyinza kukola olw’okukubwa ekireetedde ssente okubula kyokka nga ebyetaago bingi.

Nsaba Gavumenti okunoonyereza ku baserikale baayo abantulugunya.

GRACE NYANGOMA

Ono kati y’akulira poliisi y’e Kampalamukadde. Bwe nabuuzizza ku ky’okukyusa omusango gwa Ssaalongo Kanakulya ne bamusiba n’okumutulugunya, yantegezezza nti bye njogerako ye tabimanyi era tabiwulirangako.

Kyokka nasoose kumubuuza ku Ssaalongo Kanakulya n’ambuuza mangu nti, ‘Abadde ki?’

RONALD BUSUULWA

Ono ye yawasa omuwala atanneetuuka, bwe nayogedde naye yagambye: Kituufu omuwala namutwala era kati yazaala wabula twakola endagaano ne taata (Kanakulya) era twali twakkiriziganya naye.

Taata yangamba nti wadde omwana mmwagala naye ekituufu yali akyali muto ate ng’asoma.

Yangamba nti bwe nnaaba nnaamuwasa, mmutwale asome omulimu nga okusiba enviiri nga bw’akula bw’anaatuuka okwesalirawo olwo mmuwase.

Ebyembi omwana yajja ewange n’angamba nti ye yali ayagala kubeera nange era nabeera naye emyezi mwenda.

Lumu poliisi yajja n’enkwata ne bansindika e Luzira. Ekyannyamba sitaatimenti y'omuwala gye yakola yalaga nti ne kitaawe yalina ky’amanyi ku kyali kiriwo era ne bamukwata.

Nali siyinza kufiira mu kkomera kubanga bazadde bange baali bannumirirwa era bannyamba okuvaayo.

Nze ndowooza ekyanyiiza taata kwe kuba nga saatuukiriza ndagaano kukolera muwala mulimu.

Naye wadde ebyo byaliwo, nakubidde taata (Kanakulya) essimu nga nneetonda era nsaba ansonyiwe.”

Kyokka Kanakulya yabuuzizza nti bw’aba yali yakkiriziganya ne Busuulwa ate lwaki yandibadde amuwawaabira ku poliisi? Ye lwaki yandibadde agaana emitwalo 70 nnyina wa Busuulwa ze yali amuwa?

 oliisi ye amungoona anakulya gye baamutulugunyiza Poliisi y’e Namungoona, Kanakulya gye baamutulugunyiza.

 

KU POLIISI E NAMUNGOONA

Bwe nagenze ku poliisi e Namungoona gye baatulugunyiza Ssaalongo Kanakulya, nabuuzizza atwala poliisi ASP Godfrey Twinomugisha ku nsonga zino wabula n’angamba nti ye ebiseera ebyo teyaliiwo okuggyako mbuuze owa poliisi Nyangoma eyaliwo.

Ku poliisi e Kawaala nasanzeeyo akulira ebikwekweto ku poliisi eno Fred Kyobe eyantegezezza nti eyo fayiro nkadde tebagimanyiiko kubanga ye ne OC bakyali bapya ku poliisi eyo!

Ne kaakati, Luwedde abalibwa nti tanneetuuka.

Ekyebuuzibwa nti bw’aba Busuulwa akkiriza nti omuwala yamuzaalamu omwana, lwaki Poliisi yamuta ng’ate etteeka limukwata olw’okukozesa omwana atannaweza myaka 18?

Poliisi esinziira ku ki okukwata Ssaalongo Kanakulya gw’erumiriza okufumbiza omwana atanneetuuka ate n’eta eyamuwasa!

Ye mulamuzi ki eyata Busuulwa era yasinziira ku ki ng’ate naye akkiriza yazza omusango?

Olwo etteeka lyassibwawo lwaki? Bassedduvuttgo abalala banaayiga batya ng’abantu nga Busuulwa balya butaala?

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Centenary bank etadde ssente mu...

Aba Centenary bank beegasse ku Bukedde famire mu nteekateeka yaabwe ey’okuddiza ku basomi ba Bukedde, abalabi ba...

Ye 220x290

Omusajja ow'ebbuba asazeesaze mukazi...

OMUSAJJA alumbye mukyala we ku bugenyi gw’alinamu abaana bana, n’amusala obulago n’amutta ng’amulumiriza obwenzi....

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...