TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Angella Kalule bamubbyeeko essimu okuli obutambi bwe

Angella Kalule bamubbyeeko essimu okuli obutambi bwe

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2017

Yalabye ebbeere terimumalidde ky’ava amukyusiza amakugunyu n’amugamba nti mukwano olaba eby’akabi byo!

Angellakalule1 703x422

Angella Kalule

Bya musasi waffe

YASOOSE kumuyimbira luyimba lwa Katikiti nga muli afumiitiriza nti ssinga mu katikitiki asobola okuggya n’amulaba kyokka nga tekisoboka kuba oli yamubadde wala.

Awo kye yavuddewo n’asooka amukubirawo eggambo eddene….. n’amwongera eddala….!

Mu kaseera kano, Angella omukwano gwamulinnye n’aba nga by’ayogera takyabitegeera n’asalawo kukola bikolwa. Yasoose kuggyayo bbeere n’amugamba nti “ow’omukwano yonkako”.

Yadde gwe yabadde agamba yabadde taliiwo, yamuweerezza ennywanto nga bw’amugamba nti “naawe tolaba nti n’okukaluba ekalubye” era nga kye yabadde ategeeza nti omubiri gwe (Angella) gukyuseeko olw’omukwano omungi gw’alina essaawa eyo.

 ngella alule Angella Kalule

 

Yalabye ebbeere terimumalidde ky’ava amukyusiza amakugunyu n’amugamba nti mukwano olaba eby’akabi byo!

Mu kiseera kino obutuuliro bw’abadde bulabika bulungi ngera bw’eba enswa oyinza okugamba nti emulisizza.

Bino biri mu katambi Angella ke yeekwatidde ng’ali mu kagoye akeeru akasulwamu akatangaala.

Yabadde ku kitanda era ng’ekigendererwa kyabadde kya kukaweereza muganzi we gwe yabadde tali naye kyokka ng’awulira ayagala nnyo abe naye essaawa eyo.

Akatambi kaakwatiddwa kiro ng’agenda okwebaka era bwe yennyudde mu ddakiika emu n’obutikitiki 33 ze yakakwatidde n’amugamba nti mukwano kati mmatidde kaneebakemu.

Wabula mu katambi, Angella alaga nti omusajja ono gw’ataayogedde mannya ye yasoose okumusaba amulage ku byakabi bye kubanga yamugambye… nti, “anti ongambye nti oyagala kundabako, kati ndi wano mmaze okunaaba kyokka ffeesi yange erabiseemu bubi naye totya ejja kutereera (yabaddemu embalabe)”.

Bwe yamaze ebyo n’amusiibula ogusembayo n’amusaba nti .. “ndabira abaana bange”. Kirabika abaana Angella be yabadde ayogerako bandiba ab’omusajja.

 ngella alule Angella Kalule

 

ANGELLA ASATTIRA: Ku Lwokubiri lwa wiiki eno, Bukedde ng’emaze okufuna akatambi kano n’amusaba okumusisinkana abeeko by’atangaaza, yagambye nti ali bbize kyokka n’asabibwa afune obudde ajje kuba ensonga yabadde nkulu nnyo eyabadde eyinza n’obuteetaagisa kumalira ku ssimu kyokka bwe yalemeddeko nti ali wala Bukedde kwe kumubuuza ky’ayogera ku katambi, kwe kunnyonnyola ati:

“Ekituufu nze ndi mu katambi ako era nze nakakutte kuba ebyo bikolebwa bulijjo kuba biba bya bantu babiri abaagalana. Era bwe nakakutte nakaweerezza oyo gwe njagala. Saagala muntu alowooza nti kipya oba nakoze kivve.

Kino tekyanditegeerekese mu lwatu kuba byabadde byaffe abaagalana wabula waliwo eyabbye essimu yange n’aggyamu akatambi ako akasaasanye.”

Kyokka yagambye Bukedde nti alina abantu b’amanyi abaagala okumwonoona era abamayi nti ne bwe kiba kyetaagisa kuboogera mannya asobola kuba abakooye.

Mu kaseera kano, Angella ali mu kutya ng’alowooza nti akatambi kano kagenda kutandika okusaasanira emikutu gy’amawulire naddala atya nti abantu ku Social Media bagenda kukakwatamu bakafuulefuule buli omu akakozese ky’ayagala kongere okusaasaana.

Mu kusattira kuno, Bukedde bwe yamaze okwogera naye ku nsonga zino n’assa ku facebook obubaka nga yeewozaako ng’ababbi bwe bamusudde mu buzibu n’alabula nti essaawa yonna abantu bwe balaba ebifaananyi eby’obuseegu tebeewuunya.

Yasabye ababbye essimu ye gy’agamba nti ya bbeeyi agimuddize. Yaloopye ku poliisi omusango gw’okubbibwako essimu ye wabula agamba nti tamanyi kiddako era yeekwasizza Katonda ng’agamba nti na kino kijja kuggwa.

 ngella ngayimba ku mukolo Angella ng'ayimba ku mukolo

 

ANGELLA KALULE Y’ANI?

Yazaalibwa Mengo mu 1977. Yasomera Aga Khan Nursery School e Nairobi mu Kenya era agamba nti eno gye yafunira omusingi gw’okuyimba.

Yatandika okumanyika mu 1997 bwe yeeyunga ku kibiina kya Diamond Ensemble ekya Kato Lubwama.

Eyo gye yayimbira akayimba ka ‘Akamuli’. Yayimbirako mu bbandi ya Light Rays. Agenze okuyimba ennyimba ezimutunze omuli ‘Katikitiki, Kakondo, Highway, Mulaalo wange n’endala ng’alina ezaasooka okumutunda omuli ‘Akasiisi’.

 ngella ku mukolo ogumu Angella ku mukolo ogumu

 

Yayimbirako mu Splash band era eyo gye yakolera oluyimba olulala olwa Mbipinga ne W’otali ssebo.

Wano w’oyinza okulabira nti omuyimbi ono ayagala nnyo ennyimba eziraajanira laavu.

Era n’obulamu bwe ebya laavu tebimugendedde bulungi kubanga yayawukana ne taata w’abaana be abakulu amanyiddwa nga Zzimbe.

Wadde nga mukazi mukozi eyeezimbidde n’ennyumba e Kawuku ku lw’e Ntebe, alina omusajja amuyambako okwekolera ebintu omuli K’angie band, K’angie restaurant n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sat15 220x290

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale...

Abakiise e Mengo batabuse lwa baserikale abakuba abantu ba Kabaka

Tup1 220x290

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano...

Ebigezo bya S4 bifuluma ku Lwakutaano

Mak1 220x290

Suzan Makula asomedde Bugingo plan...

Suzan Makula asomedde Bugingo plan

Top4 220x290

Teddy alabudde Bugingo

Teddy alabudde Bugingo

Ssengalogo 220x290

Ageemugga bagaggya wa?

Ssenga sirina mazzi ga kikyala kati omwami wange omukwano gwakendeera.