TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka alagidde be kikwatako e Mmengo basomese abantu enkola y'ekyapa mu Ngalo

Kabaka alagidde be kikwatako e Mmengo basomese abantu enkola y'ekyapa mu Ngalo

By Dickson Kulumba

Added 18th June 2017

Kabaka alagidde be kikwatako e Mmengo basomese abantu enkola y'ekyapa mu Ngalo

Kab1 703x422

Kabaka ng'awuubira ku bantu be e Kyankwanzi

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde ensonga z’ettaka zongerwe okusomesebwa eri abantu be bbo benyinni beesalirewo ku kiki kyenyinni kyebalina okugenda nakyo ku nteekateeka y’okuddukanyamu ettaka ly’Obwakabaka eyitibwa KYAPA MU NGALO eyogezza bangi ebikankana bukya etandikibwa.

Ssaabasajja eyatandika okulambula Kyankwanzi ku Lwokutaano yagambye nti “ Ku nsonga z’ettaka endala, kijja kwetaagisa okwongera amaanyi mu kusomesa abantu baffe, bategeerere ddala kiki ekigendererwa mu nteekateeka zaffe awo nno basobole bbo benyinni okwesalirawo.

Abantu baffe aba Buganda Land Board n’ebitogole byaffe mu Gavumenti  y’e Mmengo bajja kuba nga betaaga okussa amaanyi mu misomo egikwata ku ttaka n’engeri gye twagala okutambuzaamu enkola zaffe ku ttaka ly’Obwakabaka.”

Obwakabaka bwalangirira enkola eno nga April 18,2017 naye kati myezi ebbiri, buli maka eno y’emboozi eri ku mimwa era bangi okuli Israel Mayengo eyaliko Minisita e Mmengo basanyukidde ekiragiro kya Kabaka kino eky’okuteekawo emisomo.

Kabaka eyabadde n’Omulangira Richard Ssemakookiro yasinzidde ku kyalo Kalagi mu ggombolola y’e Mulagi mu Disitulikiti y’e Kyankwanzi mu ssaza ly’e Ssingo olunaku lwa jjo ku mukolo gw’ekivvulu ky’ennyimba, katemba n’emizannyo ( ROYAL ARTS SHIELD FESTIVALS 2017) ekyabumbujjidde wansi w’Omulamwa ‘Obuweereza bw’embuga kukola nga tuli bumu’ ku Beatrice SS.

Omutanda yayongedde neyeebaza abo bonna abakuuma embuga z’Obwakabaka mu kitundu kino wadde ng’akimanyi nti wabaddewo okusomoozebwa kwamaanyi mu nkola ey’okugatta abamu ku bantu abawangaalira eno ng’ate enkola ya Buganda yakutambulira wamu.

Mu ngeri y’emu, Kabaka yasinzidde ku Nnamulondo n'alagira abakuumi be okukomya okukozesa obukambwe obuyitiridde ku bantu be ababeera bazze ku mikolo gy’Obwakabaka nga kino kyakubiddwa nnyo mu ngalo wamu n’abamu okuyimuka okulanya ebigambo ebitendereza Kabaka okulengera ennyo.

Ku kino yagambye nti “Mpozzi ku ludda lw’obukuumi, abaami abamu bantegeezezza nti oluusi bafuna ebizibu nga bazze ku mikolo gyaffe ndowooza abo abalina obuvunaanyizibwa ku kukuuma eddembe oluusi  bakozesa amaanyi agasusse ne berabira nti abaami baffe abazze nga bambadde engoye zaabwe entongole, bantu babitiibwa nga balina okuyisibwa ng’abebitiibwa.

Nkimanyi nti ku mikolo gino kubeerako abantu bangi, essanyu libeera lingi naye nga tusaana tujjukire nti tulina abantu baffe abakola emirimu egy’ekitiibwa, emirimu emitongole, emirimu egitali myangu era nga balina okuba nga baweebwa ekitiibwa.”

Katikkiro Charles Peter Mayiga yategezezza nti Kabaka okujja ku mikolo nga gino abeera azze kulungamya bantu be ku ngeri gye balina okufaayo ku kutumbula ebitone by’abaana abato nga muno mwe banaayita okuyiga okuwereeza Obwakabaka.

Mayiga yagambye nti” Kabaka ayagala ebitone by’abaana be okutumbulwa kubanga bwotayamba mwana kukuza kitone obanga omukotogera.

Ab’e Kyankwanzi mwebale kwaniriza Kabaka mu ngeri ey’ebbugumu era kyembakuutira tewabeera muntu yenna abaggya ku Kabaka wammwe. Awangaale nnyo ayi Ssaabasajja Kabaka wa Buganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’