TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe bamuggyemu obwesigwa ne bamuggyako sitamp y'ekyalo

Ssentebe bamuggyemu obwesigwa ne bamuggyako sitamp y'ekyalo

By Musasi wa Bukedde

Added 19th June 2017

Ssentebe bamuggyemu obwesigwa ne bamuggyako sitamp y'ekyalo

Li1 703x422

ABADDE Ssentebe w’ekyalo kye Nagangabo mu ggombolola y’e Kyazanga mu Disitulikiti ey’e Lwengo Abuduh Bakunda amaamuddwa kuntebe lwa kukozesa bubi sitaampu y’ekyalo.

Abatuuze bayise sentebe w’eggombolola eno Musa Bahati Kayondo
abataase ku Ssentebe abafuukidde ekizibu,wakiri balonde sentebe omuggya sikuba nga batwalira amateeka mungalo.

Bano bamulumirizza okukozesa obubi sitampu y’ekyalo nga yekobaana n’abagagga n’atunda ebibanja bya bannamwandu,bamulekwa ssaako n’abakadde ekivuddeko abantu okwazirana nga tebakyalina webasula.

 


Bagaseeko nti Bakunda akoze kyamanyi okwezibikanga enkulaakulana eba abaleteddwa mu kitundu ng’ono ategeezako balugandalwe lw’oka nga n’omwaka oguwedde baalumbibwa kibuyaga eyasuula amayumba gaabwe n’ebirime ng’obuyambi obwava ku disitulikiti yabwezibika.

Mungeri y’emu bamwatulidde nga bwe bamukooye abaviire kuntebe era obubisi n’obukopi byabadde abavuma atandike okubivuma Famire ye.

ABUDUH BAKUNDA AYOGEDDE
Ono afugidde emyaka 31 bukya Pulezidenti Museveni agenda kuntebe.
Bakunda ebigambo by’abatuuze agiyise nsaalwa olw’okuba balaba ng’afuna akasiimo okuva ewa Pulezidenti akabaweebwa buli mwaka.

“Basajja mmwe ne bakazi mmwe temugenda kufuna sentebe alinga nze kuba ndeese enkulaakulana mu kitundu omuli okulimisa enguudo,okunnyikiza enkola ya bulungibwansi,okugogola enzizi n’okubasakira mu bakulu naye basiima ogenze” Sentebe Bakunda ng’ayogera.

Ono bamukubye olube nti tukukooye,nakalambira nti bwe kuba kulonda sentebe omuggya erinnya lyange ntitadeyo mulabe bwesiwangule.Sentebe Kayondo eyayitiddwa okulondesa sentebe omuggya yasoose kusomesa batuuze ne bakaanya bakube akalulu k’okumugongo.

Kukifo kya Sentebe abatuuze baawaddeyo amannya asatu okuli Juma Byalugaba,Fred Boogere ne Abuduh Bakunda abadeko.
Abuduh Bakunda yafunye obululu busatu nga bwamuwereddwa batabanibe nawangulwa Juma Byalugaba n’obululu 39 ate Fred Boogera nafuna obululu 18.

Bakunda agenze yewera nga bwagenda okubaloopa ewa Pulezidenti
Museveni okumuyita emabega ne balonda ng’okulonda tekunaba
kulangirirwa.


Wabula sentebe Kayondo asabye sentebe omuggya Byalugaba
n’akakiiko ke  okujjumbira enteekateeka za Gavumenti n’okuwa sitaampu ekitiibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...