TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ssentebe w'ekyalo e Lwengo bamumaamuddeko lwa kukozesa bubi sitampu

Ssentebe w'ekyalo e Lwengo bamumaamuddeko lwa kukozesa bubi sitampu

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2017

ABADDE ssentebe w’ekyalo Nagangabo mu ggombolola y’e Kyazanga mu disitulikiti ey’e Lwengo, Abuduh Bakunda amaamuddwa ku ntebe lwa kukozesa bubi sitampu y’ekyalo.

Kwata1 703x422

Ssentebe w'eggombolola y'e Kyazanga ng'akwasa, Juma Kayondo ng'akwasa Juma Byarugaba sitampu y'ekyalo. Byarugaba gwe baalonze nga ssentebe w'ekyalo omuggya oluvannyuma lw'okumaamulako Abdul Bakunda mu katono ku ddyo. EBIFAANANYI BYA FLORENCE TUMUPENDE

Kyaddiridde abatuuze okuyita ssentebe w’eggombolola eno, Musa Bahati Kayondo abataase ku ssentebe abafuukidde ekizibu.

Bamulumirizza okwekobaana n’abagagga n’atunda ebibanja bya bannamwandu, bamulekwa n’abakadde ng’akozesa sitampu y’ekyalo ekivuddeko abantu okubunga nga tebalina we basula.

Bamulanga n’okwezibinkanga ebyenkulaakulana ebibaleeterwa ku kitundu ng’abigabira ab’enganda ze.

 balonzi nga bakuiba akalulu kokusimba ku mugongo okulonda ssentebe omuggya Abalonzi nga bakuiba akalulu k'okusimba ku mugongo okulonda ssentebe omuggya

 

Wabula Bakunda agiyise nsaalwa y’abantu olw’okuba balaba afuna akasiimo okuva ewa Museveni buli mwaka.

Ku kifo kya ssentebe abatuuze baalonze Juma Byalugaba eyafunye obululu 39, Fred Boogere 18 ate Bakunda n’afuna busatu.

Bakunda aweze okubaloopa ewa Pulezidenti Museveni okumuyita emabega ne balonda ng’okulonda tekunnalangirirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...