TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Kasolo awadde ssentebe w' eLwengo ekiragiro

Minisita Kasolo awadde ssentebe w' eLwengo ekiragiro

By Musasi wa Bukedde

Added 20th June 2017

Minisita Kasolo awadde ssentebe w' eLwengo ekiragiro

Kas1 703x422

Minisita Kasolo ng'ayogera eri abatuuze

Bya Florence Tumupende

MINISITA avunaanyizibwa ku SACCO mu ggwanga Harunah Kyeyune Kasolo asabye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Lwengo George Mutabaazi obutaddamu kukuba abatuuze kibooko,akubemu abakulembeze ba Gavumenti,bagambye nti be bavuddeko obuzibuy n'okulemesa enkola za Gavumenti.

Minisita Kasolo okwogera bino abadde mu lukiiko olutuumiddwa
Bbalaza mu ggombolola ye Kisekka mu disitulikiti y’e Lwengo
nga yasindikiddwa prime minister Ruhakana Rugunda n’ekigendererwa ky’okuttaanya obuweereza bw’abakulembeze okubateeka ku nninga balage ensasaanya y’ensimbi ne bye baweereza abantu.

Minisita Kasolo okuva mumbeera n'asaba Mutabaazi akuba abantu kibooko abakulembeze kibooko kidiridde abakulembeze b’e Lwengo okubadde akulira eby’obulamu Joseph Mutyogoma okuyisa olugaayu mu bibuuzo ebimusabiddwa abatuuze abannyonnyole lwaki amalwaliro ga Gavumenti tegakola mu nnaku eza wiikendi ssaako okubasindikanga okugula eddagala mu malwaliro egekozesa?.

Dr. Mutyogoma yakalambidde mu lujjudde lw’abantu n'ategeeza nga
amalwaliro agali ku Health Centre II bwe gatalina ku kola ku wiikendi ekyaggye minisita Kasolo mumbeera amubuulire Pulezidenti Museveni weyassa akawaayiro nti abalwadde tebalina kulwala ku wiikendi.

Kasolo yennyamidde ku bakozi ba Gavumenti bagambye nti be
bakyalina ekizibu so si sente zebagamba nti ntono nabasaba okubeera abeerufu mu mirimu gyebakola nga balambika akatono akabawereddwa kye bakakozeemu so sikwekussa mbuto zabwe.

Ye RDC Harriet Nakamya alopedde minisita Kasolo nga abasawo ba
Gavumenti bwe bamufuukidde ekizibu okuli amyuka akulira eddwaliro lya Kyazanga Health Centre IV okulagajjalira abalwadde babiri mu bbanga ly’amwezi gumu ne bafiira mu lukuubo lw’eddwaliro saako okwekandaga ne bafuluma olukiiko olwali lugendereddwamu okugonjoola ebizibu ebibaruma tebaagala bannamawulire balwetabemu nga bwe twakulaga mu

Abatuuze basabye gavumenti ng’eyita mu woofiisi ya prime
minisita Ruhana Rugunda okusaawo ekimeeza ekitumiddwa Bbalaza
okuberawo emirundi ebiri mu mwaka kisobole okugolola ettumba abo abezibika ensimbi n’abo abe bulankanya ku mirimu gyabwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”