TOP

Ani akuma omuliro mu lutalo lwa ‘Tukutuku’?

By Ali Kizza

Added 20th June 2017

POLIISI eyongedde okulabula abavuga obupikipiki obw’emipiira esatu (Tukutuku) ku nguudo nti baddemu okwetegereza olukusa lwe baabawa, tebukkirizibwa kusaabaza bantu wadde ebyamaguzi ku luguudo.

Tukutuku1 703x422

‘Tukutuku’ nga katisse abasaabaze.

Bya ALI KIZZA, MOSES LEMISA, JOSEPH MUTEBI, MARTIN KIZZA NE WINNIE NABAKIIBI
 
POLIISI eyongedde okulabula abavuga obupikipiki obw’emipiira esatu (Tukutuku) ku nguudo nti baddemu okwetegereza olukusa lwe baabawa, tebukkirizibwa kusaabaza bantu wadde ebyamaguzi ku luguudo.
 
Omwogezi wa poliisi y’ebidduka, Charles Ssebambuulidde yategeezezza Bukedde nti okusinziira ku nnamba eziweebwa ‘Tukutuku’, zirina kukola mirimu ku makampuni amanene munda nga mwe butambuliza ebintu.
 
Ayongerako nti ssinga omuntu abeera ne ‘Tukutuku’ ku ffaamu ng’agikozesa kutambuza mata okuva mu bitundu ebyesudde okugaleeta we bagakuhhaanyiza ekyo kikkirizibwa naye tekakkirizibwa kutambula ku luguudo kuva Mukono okugenda e Lugazi nga katambuza ebyamaguzi oba okusaabaza abantu.
 waha ukundo nganyumya bwafunye mu ukutuku Twaha Rukundo ng’anyumya bw’afunye mu ‘Tukutuku’.

 

 
EBIRI EMABEGA W’ENKAAYANA ZA ‘TUKUTUKU’:
Obupikipiki buno bubadde busikidde emirimu gya bodaboda.
Abeesobola babadde batandise okukyusa okuva ku bodaboda nga bagula ‘Tukutuku’ okusobola okukola ensimbi eziwera.
 
Abali mu mulimu guno bategeeza nti owa ‘Tukutuku’ buli lunaku asasula 30,000/- ew’omugagga so ng’owa bodaboda olunaku aleeta 10,000/-.
 
Embeera eno ewalirizza abalina bodaboda okulwanagana n’aba
‘Tukutuku’ ababadde babatutteko emirimu.
 
‘Tukutuku’ tekomye ku kunyigiriza wa bodaboda yekka, n’owa takisi emulese agyasimula bugolo.
 
Wiiki ewedde abattakisi baalwanaganye n’abobupikipiki buno ku
luguudo lw’e Nakawuka oluva e Nateete.
 
Entabwe weeva, tukutuku etikka abantu basatu naye abazivuga
banyigiriza ne batikkamu bana.
 
Bano buli omu bw’asasula 2,000/- atambula mu bwangu nga taluddeewo olwa takisi etwala ekiseera ng’etikka era atambula
takubiddwa nfuufu nga bwe kibeera ng’atambulidde ku bodaboda.
wapoliisi ngalaga  ukutuku akaakubiddwa abattakisi mu kwekalakaasaOwapoliisi ng’alaga ‘ Tukutuku’ akaakubiddwa abattakisi mu kwekalakaasa.

 

 
GAVUMENTI EZIWEZE KU NGUUDO:
Minisita wa Kampala Beti Kamya yavuddeyo n’awera ‘tukutuku’. Yalagidde aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraano okulagira abaserikale b’ebidduka ku nguudo okukwata buli kapikipiki kano
ke basanga ku luguudo nga kasaabaza abantu oba okutambuza
ebyamaguzi.
 
Ssebambuulidde yategeezezza Bukedde nti ekizibu ekiri mu ggwanga lyaffe omuntu bw’abeera akola ekimenya amateeka, bwe bamuyimiriza okukikola ye abeera ayagala etteeka likyuke likole ky’ayagala mu kifo kya ye okukyuka akole etteeka kye limulagira okukola.
 
Yagambye nti yenna akwatibwa bagenda kumuvunaana okumenya endagaano gye yakola ng’afuna layisinsi emukkiriza okuvuga tukutuku kubanga tekkirizibwangako kusaabaza bantu.
 
ABAVUGA TUKUTUKU NE TAKISI BOOGEDDE:
James Ssenyonga ssentebe w’abavuga ‘Tukutuku’ ku siteegi ya Centenary e Nateete yategeezezza nti bo tebalina muntu gwe balemesa okuggyako ng’aba takisi balina bigendererwa byabwe birala.
 
Agamba nti abasaabaze be balina okusalawo kubanga takisi
w’ebatwalira 2,000/- ‘Tukutuku’ etwalirawo 1,000/-.
 
Kasibante Ssempa ssentebe wa baddereeva ba takisi abakolera ku luguudo luno yategeezezza nti abavuga bupikipiki buno obwaleetebwa abanene tebalina misoso mingi nga takisi kyokka ne babatwalako abasaabaze olwo takisi ne bazivuga nga nkalu nga kino
kye kivuddeko okubugoba ku luguudo lwe Nateete.
 
Jane Nantume omusaabaze eyasangiddwa mu kapikipiki kano yategeezezza nti abantu baavu, takisi zibaseera kyokka nga kapikipiki katwalira ssente ntono nga abattakisi kye bakoze okubugoba ku luguudo lwe Nakawuka balimbye nnyo.
 asin ematimba akulira ekibiina kya takisi ekya otsa ngayogera eri baddereeva abaabadde bataamidde ukutuku mu ppaaka ya takisi ezikola ku lwe akawuka Yasin Sematimba akulira ekibiina kya takisi ekya Kotsa ng’ayogera eri baddereeva abaabadde bataamidde ‘Tukutuku’ mu ppaaka ya takisi ezikola ku lw’e Nakawuka.

 

 
AFUNYE MU TUKUTUKU KY’AGAMBA:
Twaha Rukundo omugoba wa ‘Tukutuku’ mu kibuga Kampala agamba nti emyaka ng’ebiri yatuukirira kkampuni emu e Ntinda.
 
“ Bakkiriza okunguza akapikipiki kano ku kibanjampola nga nnina okukasasula 10,500,000/- nasasulako 1,500,000/- ne tukola endagaano nga buli lunaku nnina okusasulayo 30,000/-.
 
Nasooka kutya okusasula 30,000/- eza buli lunaku naye bwe nakola okumala akaseera ne nkizuula nti nsobola okukola buli lunaku ne nsasula ate ne nfissaawo 60,000/-.
 
Kano kapikipiki omuntu ne bw’abeera mulema amagulu ng’emikono miramu asobola okukavuga n’akola ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.