OMUNTU omu afiiriddewo mmotokka ya buyonjo Toyota Corona nnamba UAG 901 V bweyingiridde Fuso ebadde etisse ennyaanya namba UAW 498 X neegoya abalala 8!

Afudde ye Living Stone Mugerwa 35 abadde Ddeereva wa mmotoka ya buyonjo nga akabenje kagudde mu Kiseneyi Kisoma ku luguudo oluva e Kyotera okudda e Rakai.
Abasimattuse okufa bagenze n'ebiwundu omuli Isa Nkurunziza,Wycliff Twekwase,Badru Ssempijja ne Faith Nakayiwa n'abalala baddusiddwa mu ddwaaliro lya Kyotera Medical Centre ngabataawa!

Akulira poliisi ye Kyotera Patience Baganzi ategeezezza nti omugoba wa Fuso adduse kyokka bakyanoonyereza ku kabenje kano