TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Basudde obubuzi okumpi n'amaka g'obwapulezidenti e Nakasero

Basudde obubuzi okumpi n'amaka g'obwapulezidenti e Nakasero

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd June 2017

POLIISI etandise omuyiggo gw'abavubuka abaasudde obubizzi e Nakasero okuliraana amaka g'Obwapulezidenti.

Suula4 703x422

Ebifaananyi bya YUDAAYA NAMYALO

BYA BENON NSUBUGA

POLIISI etandise omuyiggo gw'abavubuka abaasudde obubizzi e Nakasero okuliraana amaka g'Obwapulezidenti.

Obubizzi buno kigambibwa bwasuuliddwa abeeyita aba Jobless Brotherhood  nga baasoose kubuwandiikako bigambo ku bipande nga biriko obubaka enteekateeka yonna eyinza okukolebwa okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okuva ku 75. Era bawakanya n'ennongoosereza mu tteeka ly'ettaka.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiraano, Emirian Kayima agambye nti bali mu kwekenneenya obutambi obwakwatiddwa mu kifo kino okusobola okuzuula abantu abaasuddewo obubizzi bakwatibwe bavunaanibwe.

Wabula Kayima asekeredde abavubuka bano b'ayise abasiiwuufu b'empisa n'abageraageranya n'obubizzi bwe baleese n'abalung'amya okukozesa amakubo amatuufu okulaga okwemulugunya kwabwe.

Ye omwogezi w'abavubuka bano, Robert Mayanja Bukedde bw'amukubidde essimu, yeewaanye nti baakubye polisi eddolera ne basula obubizzi n'awera nti tebagenda kukomya kusuula bubizzi okutuusa nga ensonga ze balwanilira okutereza omuli okumalawo obuli bw'enguzi n'endala zikoleddwaako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu