TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Abafumbo batabukiddee London olutalo nebaluleeta mu Uganda

Abafumbo batabukiddee London olutalo nebaluleeta mu Uganda

By Joseph Makumbi

Added 23rd June 2017

ABAFUMBO Bannayuganda batabukidde ku kyeyo e Bungereza omusajja n’aggya abaana basatu ababadde ku ssomero mu Uganda n'abamukweka.

Fumbo1 703x422

Amaka gaabwe agali e Naalya mu Munisipaali y'e Kira.

Bob Richard Kintu 50, yatabuse ne mukyala we ow’empeta Lilian Nina Bayiga Kintu 36, gw'alinamu abaana 4 oluvannyuma lw’omukazi okukizuula nti bba, alina abakazi abalala babiri omu ali mu Uganda n’omulala ali mu Amerka.

Obutakkaanya wakati waabwe bwatandika mu 2006 nga waakayita emyaka ebiri nga baafumbiriganiddwa. Wabula entikko yaabwo, yatandika ku ntandikwa y’omwaka guno omukazi n’asaba kkooti mu Uganda emuwe olukusa okulabirira abaana era emuwe n’obuyinza ku maka gaabwe agali e Naalya - Namugongo ebaawukanye n’okubaawukanya.

Bayiga yategeezezza nti, baagattibwa mu bufumbo obw'ekitala nga December 30, 2004 mu kibuga Enfield mu kibuga London ekya Bungereza era nga babadde babumazeemu emyaka 13 kyokka nga baagenda okugattibwa nga bamaze okuzaala omwana asooka.

Yagambye nti, Kintu bwe yali amukwana yamubuulira amazima nti, yalinayo (Kintu) abaana babiri bombi bawala omu yamuzaala akyasoma ate omulala yamuzaala mu eyaliko muganzi we ne baawukana.

Yagambye nti, teyamanya nti omusajja yalinayo abakazi abalala. Lumu nga beebase, omukazi yalaba obwoya obweru wansi w’ekitanda nga bwamulabikira okuba obw’ensolo kyokka bwe yabuuza bba gye bwavudde n'amukuba.

Anyumya nti, mu myaka 13 gy’amaze ne Kintu mu bufumbo, alabiddemu abikuuno bingi anti omwami amukuba w'ayagalidde nga n’abaana balaba amukola buli ky'ayagala okumulaga nti ye, ye musajja mu maka.

Bayiga agamba nti, yasooka n'alowooza nti, omusajja anaakyusa wabula ebbanga lyetoolodde eriwera gwe yali asuubira okukyuka ate yeeyongera kutabuka.

BAWALA BE BADDUKA AWAKA

Bayiga agamba nti olw’empisa za bba, bawala be, be yasooka okuzaala badduka awaka olw’okubatulugunya n’engeri gye baalaba ng'atulugunya nnyaabwe omuto.

Yagambye nti omuwala omukulu (alina emyaka 27) ne mutoowe, kitaabwe yabatwalanga ne balaba abakazi abalala b'aganza ate bwe yaddanga awaka ng’atuukira ku ye eyasigadde awaka ng’atimpula.

Yagasseeko nti, buli mwaka Kintu abaddenga ajja mu Uganda emirundi esatu ate nga bw'addayo abeera n’ebifaananyi by'abakazi be yapepeyanga nabo.

Agamba nti lumu bwe yabigwako yabimuteekera ku mmeeza ng’abibikidde w'amuteera emmere bwe yabiraba n'aggyayo omusipi n'atandika okumukuba era n'ayita poliisi.

ABAZADDE BAZUNZA ABAANA

Olw’embeera gye baalimu mu bufumbo ey’okutulugunyizibwa, Bayiga yasalawo okwetikka abaana basatu okuli Roger Kintu 10, Robson Kintu 8, ne Richard Kintu 6 n'abaleeta e Uganda.

Yagambye nti yali yabassa mu ssomero erimu e Kololo kyokka omusajja yazze n’abaggyayo n’abatwala mu kifo gy’ateebereza nti, wa muggya we gw’amanyiiko erya Mabel abeera ku lw’e Ntebe.

Yagambye nti, buli lw’abadde agezaako okuviira Kintu, ng’amutiisatiisa nti, bw'aba ayagala kunoba tageza n'akwata ku baana atambule afulume ennyumba nga bwe yajja tabaako ky'atwala.

ayiga bwafaanana wabula kyokka nga yazzeeyo e ondonBayiga bw'afaanana wabula kyokka nga yazzeeyo e London.

 

Balina kalina gye baazimba e Naalya - Namugongo kyokka Kintu yalagira mutoowe William Kintu agibeeremu nti singa Bayiga agezaako okugitwala ajja kulemesebwa mulamuwe.

OMUKAZI AGENZE MU KKOOTI

Bayiga oluvannyuma lw’okukizuula nti obufumbo bwe bulabika tebukyalimu kiramu kyonna, yasazeewo okuddukira mu kkooti e Kira mu Uganda emutaase.

Yaloopye ng’asaba kkooti eno emuwe olukusa okubeera n’abaana be, okufulumya William Kintu mu nnyumba n’okumwawukanya ne bba Bob Richard Kintu.

Omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti eno Kenneth Gimugu yalagidde poliisi y’e Kira okufulumya William Kintu (akyasoma) bamukwase mukulu we Michael Kintu amufunire w’abeera ebisumuluzo bikwasibwe Bayiga. Era yalagidde nti, abaana baweebwe Bayiga okutuusa ng’omusango gumaze okusalibwa nga July 5, 2017.

Wabula omuduumizi wa poliisi ya Kira, Richard Asiimwe bwe twamutuukiridde ku kiragiro kya kkooti yagambye nti abafumbo bano baludde nga balina obutakkaanya era ensonga ziri mu kkooti.

Yagaseeko nti, ekiragiro kya kkooti baakitadde mu nkola kyokka n'agattako nti, omusajja bw'aba yatutte abaana alabika alina ekiragiro kya kkooti ekirala kye yafunye nti kyokka oludda lwa Bayiga bwe luba lukiwakanya, lulina okuloopa omusango.

Bayiga alumiriza bba okusulanga mu bbaala ne loogi e London awaka n’addayo ng’emmambya esala nga n’olumu asanga lisiiti za wooteeri mwe yasuze n’abakazi mu ngoye ze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?