TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga basabiddwa okujjumbira okugaba omusaayi

Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga basabiddwa okujjumbira okugaba omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd June 2017

Bannayuganda abali ebweru w'eggwanga basabiddwa okujjumbira okugaba omusaayi

Kim1 703x422

Mulimira ng'agaba omusaayi

BANNAYUGANDA ababeera  e Bungereza basabiddwa okujjumbira okuwangayo omusaayi n’ebitundu by'omubiri eby’omunda okugeza ng’ensigo n’ebirala kiyambe mu kutaasa obulamu bw’abantu abalala ababa babyetaaga.

“Waliwo abantu baffe bangi abalwala ebitundu bino ate nga tebalina busobozi bubigula ku buwanana kwe bibeera, n’olwekyo singa abazira kissa beewayo ne babitona, kijja kutaasa obulamu bw’abo abandibadde bafa”, Moses Mulimira bwe yategeezzza.

 oses ulimira and tephen  organ  associate director international services Moses Mulimira and Stephen J Morgan associate director international services

Mulimira akulira ekitongole ky’ebyobulamu ekya UK -Uganda health Alliance  okusaba kuno yakukoledde ku mukolo ogwategekeddwa mu kibuga London okutonera Uganda emmotoka  ssatu ezigenda okweyambisibwa mu kutambuza omusaayi abantu gwe baba bawaddeyo. 

Mmotoka zino ezibalirirwamu pawunda za Bungereza 200,000 (eza Uganda obukadde 950) zaaweereddwayo ekitongole ekivunaanyibwa ku by’okukunga abantu okuwaayo ebitundu by’emibiri gyabwe eby’omunda n’okubitambuza.

Akulira ekitongole kino Muky. Sally Johnson ye yakwasizza mmotoka zino eri  Muky. Prossy Namiiro eyakiikiridde omubaka wa Uganda mu Bungereza ku mukolo ogwabadde  mu Oxford Circus mu kibuga London.

 mu ku mmotoka ezatoneddwa ganda Emu ku mmotoka ezatoneddwa Uganda

Muky. Johnson ng’ayogera eri abeetabye ku mukolo guno, yagambye nti  endwadde ezimu omuli nga nnalubiri ( sickle cells) zandibadde zisobola okuwonyezebwa awatali buzibu, singa abantu baali bajjumbira okuwaayo ebitundu by’emibiri gyabwe ebyomunda.

“Naye olw’okuba tebakikola, tusanze obuzibu bungi okufuna ebitundu bino okubiteeka mu balwadde ababeera babyetaaga”, Johnson bwe yategeezezza.

Kwe kusaba abantu okwongera okujjumbira okuwaayo ebitundu bino n’omusaayi kitaase obulamu bw’abantu mu nsi yonna.

  ally ohnson  amiiro ne ulimira Sally Johnson , Namiiro ne Mulimira.

Ate omwogezi ow’ekiseera ow’ettabi ly’ekibiina kya NRM mu mawanga g’ebweru Moses Kimuli agambye nti  mmotoka zino y’omu ku kaweefube w’obukulembeze bwabwe obukulirwa Mw. Patrick Asiimwe gwe bukoze mu kusakira Uganda okutumbula eby’obulamu bya Bannayuganda.

 oses ilimira ku ddyo akulira   ganda ealth lliance ne ally ohnson akulira akitongole kya ungereza ekivunaanyizibwa ku bitundu byomubiri ebyomunda Moses Milimira ku (ddyo) akulira UK Uganda Health Alliance ne Sally Johnson akulira akitongole kya Bungereza ekivunaanyizibwa ku bitundu by'omubiri eby'omunda.

“Twasookera ku kuyamba poliisi ya Uganda mu kulwanyisa obubenje ku nguudo omutokomokedde Bannayuganda abangi, era tujja kugenda mu maaso n’okusakira Uganda ebintu ebirala bingi”, Kimuli bwe yategeezezza.

Na’agattako nti bino bituukiddwako olw’obumu n’obwerufu bye  balina ng’ aba NRM ababeera obweru wa Uganda.

 mu ku mmotoka ezatoneddwa ganda Emu ku mmotoka ezatoneddwa Uganda

 

Kwe kusaba bannakibiina bonna abali mu mawanga g’ebweru okujjumbira okulonda  kw’obukulembeze bwabwe obuggya, okubindabinda nga beewandiisa n’okwewala abababuzaabuza kuba bingi ebituukiddwako mu kiseera ekitono wansi w’obukulembeze obw’ekiseera  obwa Mw. Asiimwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...