TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muzeeyi alumirizza omugagga Ntaganda mu kakiiko k’ettaka

Muzeeyi alumirizza omugagga Ntaganda mu kakiiko k’ettaka

By Benjamin Ssebaggala

Added 24th June 2017

Ekibira kino yali alundiramu n’enjuki era Ntaganda we yakitwalira okusaanyawo emiti, mwalimu emizinga 150 gye yakumako omuliro enjuki n’azitta.

Kasujja1 703x422

Kasujja (atudde) alumiriza Ntaganda.

Bya Benjamin Ssebaggala ne Alice Namutebi

OMUZEEYI Desderiyo Kasujja 79, asibye Ephraim Ntaganda enkalu mu kakiiko k’ettaka ng’amulumiriza okumukaka okumuguza ekibira kye ekya kalittunsi kya yiika 12 bwe yagaana n’akitwala ku kifuba.

Kasujja yannyonnyodde nti yagenda mu kitongole ky’ebibira(NFA) mu 1997 ne bamuwa olukusa okusimba kalittunsi ku ttaka ly’ekibira ky’e Kajjansi.

Ekibira kino yali alundiramu n’enjuki era Ntaganda we yakitwalira okusaanyawo emiti, mwalimu emizinga 150 gye yakumako omuliro enjuki n’azitta.

Annyonnyola nti yagenda mu maaso n’atema emiti era n’amugaana okuddamu okulinnya mu kifo kino wadde okuggyayo enku ku miti ye gye yeesimbira.

Kasujja yagambye nti ensonga teyazitwala ku poliisi kubanga Ntaganda lwe yajja akusaanyaawo ekibira yali akuumibwa baserikale abaalina emmundu n’asuubira nti tajja kufuna bwenkanya.

Kasujja bwe yabadde annyonnyola abaakakiiko baawuniikiridde ne bakwata ku matama.

 taganda ku kkono ne muganda we ongoza owokubiri ku ddyo sooka ku ddyo ye abega ne munne wakati Ntaganda (ku kkono) ne muganda we Songoza (owokubiri ku ddyo). Asooka ku ddyo ye Kabega ne munne wakati.

 

Yayogeddenga Oluganda nga bw’atabikamu Olungereza nga n’olumu asirisa omutaputa n’ayogerezeganya butereevu n’akakiiko.

Yategeezezza nti kirabika Ntaganda yakolagana n’abakungu b’ebibira okumwefuulira kubanga baali baamuwa olukusa nga buli mwaka asasulayo ssente z’obusuulu kyokka omwaka Ntaganda mwe yasaanyizaawo ekibira kye baamuzirira ssente z’obusuulu.

Muzeeyi Dr. Kasujja yasoma bya ssaayansi era yali akolera ku yunivasite e Makerere, okugenda ku kibira yali awerekeddwaako mukyalawe Resty Nampeera.    

NTAGANDA YEWOZAAKO

Ntaganda yeewozezzaako n’ategeeza Omulamuzi Catherine Bamugemereire nti ye si yeeyagula wabula muganda we Sedrick Songoza omusuubuzi w’ettaka ye yakolagana ne muzeeyi era ettaka lye yeemulugunyako yasooka n’amuguzaako yiika 4 ku bukadde 19 oluvannyuma n’eryali lisigaddewo n’alimuguza ku bukadde 65 ze yanona mu ofiisi ya Ntaganda.

Yayongedde okunnyonnyola nti mu kumuwa ssente baakola endagaano eyabagibwa Bannamateeka ba Capital Law Partners.

Endagaano baagikubyemu ebituli.

Yabadde teraga muwendo gwa ssente ze baagula era ng’ennaku z’omwezi baaziwandiikako na peeni oluvannyuma.

Yategeezezza nti mu bino byonna ye yakola ng’omutabaganya wakati wa, Kasujja ne Songoza ng’ayagala bakkaanye.

Okujja mu kakiiko, Ntaganda yawerekeddwa Bannamateeka Macdusman Kabega ne Ivan Kyateeka.

Komisona Fredrick Ruhinda yabuuzizza Ntaganda asalewo oba ayagala akakiiko kanoonyereze era kasalewo ku nsonga zaabwe oba okudda ebbali bakkaanye ne muzeeyi Kasujja.

Bwe baabuuzizza Kasujja oba yafuna ssente n’abategeeza nti Ntaganda alimba olunaku lw’agamba nti lwe yabaweerako ssente ate lwe lumu lwe yawandiikirako ebbaluwa mu NFA nga yeemulugunya kye bavudde bawandiika ennaku z’omwezi ku ndagaano babuzeebuze.

Omulamzi yasazeewo bakomewo ku Mmande June 26, 2017 bawulirize ensonga zaabwe baziwunzike nga bamaze okuwuliriza aba NFA kye bannyonnyola.

Kasujja yasabye akakiiko katuuke ku kifo kye yeemulugunyaako kubanga baatema emiti n’enkonge ne bazisigulawo okubuliza ddala obujulizi.

CAO ALUMIRIZZA ABAAZIRWANAKO OKUMUZINGIZA

Daudi Kigenyi Naluwayiro eyali CAO wa Wakiso nga tannaba kutuuka ku baazirwanako yasoose kutegeeza kakiiko nti, olumu baali bakuza lunaku lw’abakyala ku ggombolola e Katabi ne babategeeza nti Sudhir Ruparelia yali ayiwa ettaka mu lutobazzi e Namulanda.  

Baasituka okutuukayo ng’ali ne ssentebe Matia Lwanga Bwanika ne babaggalirayo ku ffaamu y’ebimuli.

Oluvannyuma yabatwala mu kkooti n’abavunaana okusaalimbira ku ttaka lye.

Yalambuludde lwe baali mu ofiisi e Wakiso abaazirwanako abaali bawambye ettaka e Senge, bwe baamanya nti alibalemesa ne bamuzingiza mu ofiisi nga bamutegeeza nti bo baalwana.

Eyamutaasa yali RDC, Daniel Kaguta.

Yategeezezza nti mu Makindye Ssabagabo olutobazzi lw’e Kaliddubi, Ssentebe w’ekyalo Musisi yalusalamu poloti n’azitunda.

Yagambye nti basentebe ba LC bangi bakoowu basaana kukyusa kubanga n’abamu kati babulooka ba ttaka balyamu ttaamu egenda.

AGABA EBYAPA ATEGEEZEZZA NTI TEYASANGA BUZIBU KUGABA BYAPA  MU LUTOBAZZI

Moses Mubiru Balwana omu ku baagaba ettaka ly’olutobazzi e Kijabijo yannyonnyodde akakiiko nti yayambibwako omukungu w’ebyettaka e Wakiso, Gilbert Kasozi.

Yali abigobako ne munne Brian Kasule kyokka ebyembi n’afa nga tebannaba kufuna byapa.

Yagambye nti ye yateekamu ssente ziri wakati w’obukadde 11 – 12 ng’asuubira okufuna yiika 30   kubanga embeera eriwo bakugamba nti ‘tteeka ssente woolaba’’.

Bwe baamubuuzizza oba akimanyi nti kimenya mateeka okufuna ekyapa mu lutobazzi, yagambye nti ekyo takimanyi ye anoonya kufuna kubanga aludde ng’alima kalittunsi n’amayirungi.

Mubiru olwavuddewo ne bayita Omuwandiisi w’ebyapa Atalo Royera eyakakasizza nti teyasanga buzibu okugaba ekyapa ku lutobazzi oluli ku bulooka 170 Kyaddondo e Kijabijo kubanga ebiwandiiko bye baamuwa byalaga nti baagala kulimirawo n’okuzimba amayumba newankubadde ng’ettaka lyali lirabika nti baalitaliza okukuuma olutobazzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'

Capture 220x290

Maama wa Sizza Man anoonya mwana...

Maama wa Sizza Man anoonya mwana wa mutabani we.Yadduse ne ssente ezisukka mu kakadde

Abudabudawebusenew 220x290

Alina akawuka ka siriimu akwatibwa...

Bwe mbeera n'akawuka ka siriimu nsobola okukwatibwa endwadde z'ekikaba endala kabootongo?