TOP

Minisita Maria Mutagamba afudde

By John Bosco Mulyowa

Added 25th June 2017

Eyaliko Minisita w’amazzi n’obutonde bw’ensi era Minisita w’ebyobulambuzi era eyali Omubaka omukazi owa disitulikiti ye Rakai Hon.Maria Emily Nakalema Lubega Mutagamba yafudde.

Maria1 703x422

Omugenzi Mutagamba

BYA JOHNBOSCO MULYOWA

Eyaliko Minisita w’amazzi n’obutonde bw’ensi era Minisita
w’ebyobulambuzi era eyali Omubaka omukazi owa disitulikiti ye Rakai Hon.Maria Emily Nakalema Lubega Mutagamba yafudde.

 Mutagamba amaze ekiseera nga mulwadde mu ddwaaliro lya Case Hospital mu Kampala gyeyaddusibwa ngatawanyizibwa obulwadde bwa Kkokkolo w’ekibumba!


Omu ku mikwano gye era ngayaliko Ssentebe we Rakai Vincent Ssemakula yategezeza nti kituufu eggwanga lyafiiriddwa ate naddala ekitundu e Rakai gyaabadde ava era gyaabadde omukulembeze okumala ebbanga eddene.

"Kitalo nnyo tufiiriddwa omuntu abadde ekyokulabirako mu disitulikiti amazze ebbanga ddene ngaatuyuunga eri Gavumenti eyoowakati era ngaalina bingi byaakoledde Bannarakai,akoze biingi ebijja okulwa nga bimujjukirwaako ebbanga lyonna lyaamazze ngaakulembera ekitundu kino" Ssemakula bweyagaseeko.

OBULWADDE OBUMUSSE

Mutagamba yatandika okulimizibwa mu 2011 ngayatuuka nokutwaalibwa mu ggwanga lya America naajanjabibwa olwomutwe ogwaamulumanga ennyo era olwembeera yobulamu bwe eno yasalawo obutaddamu kuvuganya mu 2016 ku kifo kyomubaka omukyala owa Rakai kyaabaddemu okuviira ddala mu CA mu 1996 okutuuka 2016 lweyakyeeresa naasikirwa Hon.Juliet Kinyamatama ng’omubaka omukazi owa Rakai aliwo kati.

u maka ga utagamba e nabbingo abakungubazi baatuseeyo ddaMu maka ga Mutagamba e Nnabbingo abakungubazi baatuseeyo dda.

 



EBYAFAAYO BYOMUGENZI

Maria Mutagamba yazaalibwa nga September 05,1952 ku kyaalo Ggamba mu ssaza lye Kakuuto e Rakai gyeyakaziimba ne goloofa eyoomulembe era yoomu ku baminisita abaludde nga baweereza Gavumenti ya Museveni gyeyeesogga mu 2000 okuva mu DP era naweebwa Obwaminisita Omubeezi ow’amazzi.

-Okuva mu 2006-2012 yali Minisita waamazzi nobutonde bwensi.

-Okuva mu 2012-2016 abadde Minisita omujjuvu owebyobulambuzi okutuuka mu 2016 lweyasalawo obutaddamu kuvuganya ku kifo kino olwembeera yobulamu bwe.

Banna Rakai bamwenyumirizaamu nnyo olwakaweefube gweyasaawo okubunyisa amazzi amayonjo mu Rakai kwossa okutuumbula ebyobulambuzi mu kitundu kino era ngaayoomu ku babadde bakuumye ettuttumu lya NRM e Rakai gyeyamala ebbanga nga ye Ssentebe wa NRM owa disitulikiti eno.

OKUSOMA KWE

Pulayimale yagisomera Kakuuto bweyamala naageenda ku St. Aloysius Senior Secondary School Bwanda mu  Kalungu gyeyasomera O-Level okuva mu mwaka gwa 1967-1970.

Siniya eyoomukaaga yagisomera ku Mount St.Mary's College Namagunga A-Level okuva 1971-1972.

Mu 1973 yeegatta ku Makerere University gyeyali okuva mu 1973-1976 bweyafuna Bachelor of Arts  in Economics.

Era alina Dipulooma  mu byuuma bi Kalimagezi gyeyaguna e Nairobi Kenya mu 1980.

Mutagamba alina ne Satifikeeti mu byobukulembeze gyeyawangulira mu
John F.Kennedy School of Government e Cambridge mu kibuga Massacusetts mu
ggwanga lya America gyeyafuna mu 1997.

Yakolalo ng’avunaanyizibwa ku byokutereka mu bbanka enkulu eya Uganda  wakati wa 1976-1980.

Yali mukiise mu CA okuva mu 1994-1995 ate okuva 1999-2000 yali era akola ng’omumyuka wa Ssaabawaandisi wa DP mi ggwanga.

Mu 2000,yaloondebwa ku bwa Minisita omubeezi ow'amazzi oluvanyuma lwekwesogga NRM era ekifo kino.yakibeeramu.okutuuka 2006 lweyaloondebwa nga Minisita Omujjuvu owamazzi nobutonde bwensi.

Yabeera ku kifo ekyo okutuuka 2012
okutuusa lweyalondebwa nga Minisita webyobulambuzi okuva 2012-2016
lweyanyuka ebyobufuzi.

EBIFO EBIRALA BYEWAWEEEREZAAKO

Yaliko Pulezidenti wa African Ministers' Council ku.nsonga zamazzi
okuva 2004-2012.

-Yali Coordinator,wa  Global Women Leaders Forum ku mazzi n’obuyonjo
okuva 2005-2012.

-Yali mmemba wa ku lukiiko lwa baminisita olwa Nile River Council
,okuva 2001-2012

-Yaliko omumyuka wa Ssentebe  wolukiiko lwamawanga amagatte ku nsonga zamazzi.
 

EBIRALA.

Mutagamba yali mufumbo era bba Tarsis Matthew Mutagamba yafiira ku myaka
70 mu January wa 2004 . Afiiridde ku myaka 65 egyobukulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....