TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi basatu bakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa e Rakai

Abayizi basatu bakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa e Rakai

By Musasi wa Bukedde

Added 27th June 2017

Abayizi basatu bakubiddwa amasasi mu kwekalakaasa e Rakai

Fu3 703x422

Omu ku bayizi agambibwa okukubibwa essasi ng'addusibwa mu Ddwaliro

ABAANA basatu bakubiddwa amasasi Poliisi bwebadde egezaako okubakkakkanya nga beekalakaasa ku ssomero lya Kacheera ss erisangibwa mu katawuni ke Kacheera mu ssaza lye Kooki mu Rakai Disitulikiti. 

Abayizi ku ssomero lino bamaze ennaku ssatu nga beekalakaasa nga bawakanya eky'okugoba omusomesa waabwe gwe bagamba abadde yeefudde kafulu mu kuganza omwana bbo abayizi kye bagamba nti mpalana z'abantu abamujwetekako ebigambo okumuliisa engo.

Embeera ebaddewo oluvannyuma lw'abakulu mu Gombolola ye Kacheera nga bakulembeddwaamu Ssentebe w'egombolola eno John Magalo okutuula ne bagoba omusomesa Fred Ssebbowa ku bigambibwa nti abadde asusse okuganza abaana abawala.

Abayizi beyongedde okuva mu mbeera era ne bakuba abaserikale amayinja ekiviiriddeko abasirikale okuva mu mbeera ne batandika okukuba amasasi mu bbanga agatwaliddemu abayizi basatu.

Abasirikale oluvannyuma lw'okumanya nti waliwo bebalumizza kigambibwa nti beemuludde mpola mpola ne bassa emmundu ku Poliisi ne babulawo wabula nga bbo abazadde n'abatuuze bayoddeyodde abaana ne babaddusa mu malwaliro okufuna obubenje.

Omwogezi wa poliiisi mu Greater Masaka Lameck Kigozi akakasizza ebibabaddewo n'ategeeza nti poliisi ekyakola okunoonyereza ku ku bibaddewo era n'abaserikale bamaze okuba nga bakwatibwa okusinziira ku  biragiro bya RDC 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...