TOP

Bobi Wine alaze w’atandikira

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2017

Bobi Wine mu kwogera ne Bukedde yayanukudde ebibuuzo 13 ebyamubuuziddwa.

The3 703x422

Chameleone, Bebe Cool ne Bobi Wine.

Bya KIZITO MUSOKE

OLUVANNYUMA lwa Bobi Wine okuwangula akalulu ka Kyaddondo East, ayogedde ne Bukedde n’alaga by’agenda okutandikirako.

Robert Kyagulanyi Ssentamu 35, amanyiddwa nga Bobi Wine yalangiriddwa ku buwanguzi mu kifo ky’omubaka wa Kyaddondo East ng’awangulidde ku bululu 25,659 (ebitundu 78 ku 100) ate Sitenda Ssebalu eyamuddiridde n’afuna obululu 4,556 (ebitundu 14 ku 100).

Bobi Wine mu kwogera ne Bukedde yayanukudde ebibuuzo 13 ebyamubuuziddwa. 

Kiki ky’ogenda okutandikirako ng’omubaka w’ekitundu, kuba abantu baamaze okukikukwasa?

Ng’enda kusookera ku kya kugatta balonzi bonna , kuba nkimanyi bulungi nti akalulu kaawula mu bantu.

Abantu bonna ababadde bampagira n’ababadde bawagira abalala, bonna ng’enda kubakung’anya wamu.

Bulijjo agali awamu ge galuma ennyama naffe okukulaakulanya ekitundu kyaffe tulina okuba nga tuli omuntu omu.

Nga bwe mbadde mbiyimba nti akalulu tekabaawula era nange kye nzikiririzaamu. 

 obi ne arbie akalulu babadde bakanoonya babiri Bobi ne Barbie akalulu babadde bakanoonya babiri.

 

Ab’e Kyaddondo East abaakutaddemu obwesige obategekedde ki?

Ekitundu kyaffe kirina ekizibu ky’amazzi naddala mu bitundu nga Katadde, Kabubbu, Wattuba, ne Namavundu. Tulina n’ekizibu ky’amakubo agali mu mbeera embi.

Waliwo ebizibu bye tusobola okwekolerako ffekka ng’abatuuze nga kyetaagisa kutuula mu lukiiko lwa kyalo.

Ekirungi nnina emikwano mu ggwanga n’ebweru era nga bano bansuubizza okunkwasizaako tusobole okukuza ekitundu kyaffe.

Olutindo olubaddewo wakati w’abalonzi n’ababakulembera lugenda kuvaawo kuba ng’enda kuba mbategeeza ebifa mu Palamenti byonna.

 Kampeyini zino zikuyigirizzaaki?

Amaanyi g’abantu baabulijjo gasinga amaanyi g’abantu abali mu buyinza. Omuntu okufuna obwenkanya olina kubulwanirira.

Njize nti mu bulamu olina kulwana nnyo okusobola okutuuka ku ky’oyagala. Okumanya ng’abantu balina amaanyi nze olumu mbadde nva awaka nga nnina 7,000/- zokka, kyokka ng’enda okuddayo akawungeezi nga nkung’anyizza emitwalo 20 era nga nfunye n’emmere gye bampadde enkalu.

Tubadde tusimbula awaka nga tuli batono, kyokka nga buli we tutuuka nga tutabaala ebyalo nga batwegattako ne tusiiba nabo olunaku lulamba nga twenjeera awatali kusasulwa wadde. 

Dr. Kizza Besigye gwe mmanyi nga mukwano gwo eyagaana okukuwagira enkolagana yammwe egenda kubeera etya?

Besigye yakyogera lunye nti wadde yandyagadde okubeera nange, kyokka amateeka g’ekibiina kye ekya FDC gamukugira. Kyokka etteeka bwe libeera nga bbi nga temuli bwenkanya, nabadde musuubira okuliwakanya kuba ye yanjigiriza okujeemera amateeka amabi.

Kyokka enkolagana yaffe tegenda kukendeerako era y’omu ku bantu be ng’enda okuyita ku mbaga yaffe ey’obuwanguzi. 

Bayimbi banno okuli Bebe Cool ne Jose Chameleone abataalabiseeko mu kampeyini zo, onaakolagana otya nabo?

Abayimbi bangi abampagidde era mbasiimye nnyo, kuba ng’oggyeeko ababadde bajja mu nkung’ana zange, waliwo n’abasazizzaamu ebivvulu byabwe tusobole okuba obumu nabo.

Kituufu waliwo bayimbi bannange ababadde bandaba obubi, kyokka balina okukimanya nti kye nkola kiyamba bbo bonna n’emigigi emito egiyimiriddewo ku talanta.

Nga tuyita mu makubo ge mpiseemu, abantu bajja kwongera okuwa omulimu gwaffe ekitiibwa kuba naffe tusasula emisolo n’okuwa abantu abalala emirimu.

Baganda bange abo mbasuubira okubeera emabega wange mu kaweefube omupya gwe ntandiseeko ow’okukyusa obulamu bw’abantu nga ntandikira mu Kyaddondo East era nja kubeewuunya nnyo bwe banaakola ekikontana n’eddoboozi ly’abantu.

 

Nga bw’ofuuse omubaka wa Palamenti, watya nga Pulezidenti Museveni akuwadde obwa minisita; oweereza mu gavumenti eya NRM?

Pulezidenti akoze n’abantu bangi abagezi era abalina obusobozi, kyokka bonna ne bataganyula ggwanga, kuba y’ayagala okukola buli kimu.

Ekikulu ensi kyerina okumanya twetaaga enkyukakyuka, kyokka

ffe obutafaanana nga ba Kony abaasalawo okukozesa emmundu, ffe tusobola bulungi okukyusa obukulembeze nga tuyita mu makubo ag’emirembe nga ab’e Kyaddondo East bwe baakoze.

 Kusoomoozebwa ki kwosanze ng’onoonya akalulu.

Ekikangabwa kye twasooka okufuna kwe kufi irwa omuwagizi waffe nga waakayita wiiki emu nga tutandise okunoonya akalulu.

Abanvuganya baayagala okukikozesa ng’ekyokulwanyisa mu by’obufuzi.

Bwe nali naakewandiisa, natyamu kuba baatuggyako ssente nnyingi, ate nga nina n’okukozesa eziwera.

Nasooka ne neebuuza gye ng’enda okuggya ssente, kyokka abantu baasalawo okumpagira nga banteekamu ssente, okuwaayo emmotoka zaabwe okukkakkana nga buli mulimu gutambula bulungi. 

Osuubira kubeera na njawulo ki okuva ku babaka abalala?

Ab’e Kyaddondo mbakakasa nti balindirire okulaba omubaka ayogera ebizibu ebibaluma ng’abituusa mu Palamenti.

Ababaka mbasuubira nga tujja kukolagana bulungi, kuba buli omu akirabye nti obuwagizi obungi bwe nfunye buvudde mu kubeera nganyimirira n’ebizibu by’abantu.

Kye balina okumanya nze siri munnabyabufuzi, wabula ndi mukulembeze.

Sigenze mu Palamenti kukuuta kadingidi ka byabufuzi, wabula ng’enze kubamanyisa bizibu binyiga bantu baffe.

Njagala kulaba ng’emirimu gya Palamenti gitambulira ku bizibu by’abantu, kuba nkizudde nga bingi ebisika abantu sibiwulira bwe byogerwako.

Nja kuteesa ebintu bye ndaba mu Ghetto , bye nzija mu saluuni, mu bavuzi ba bodaboda. Enjawulo nti kati nja kuba nnina eddoboozi erisukka mu kubiyimbako obuyimbi, kyokka wano nga biwulirwa butereevu.

 Waliwo abalina endowooza enkyamu ku bayimbi ne bannakatemba nti bwe balondebwa mu Palamenti bamanyi okuvumbeera. Ggwe kino okiraba otya?

Kikyamu okulonda omuntu n’atakola bulungi ne mukiteeka ku bantu bonna abakola omulimu ogumufaanana. Okugeza tulina abasawo ne bannamateeka, abatakola bulungi, kyokka tetuyinza kukisiba ku basawo bonna.

Kibeera kikyamu okunsalira omusango olw’ekitone Katonda kye yampa

 

Nga munnabyabufuzi eyaakalondebwa, wali obaddeko omukulembeze mu bulamu bwo?

Kimanyiddwa bulungi nti nze Ghetto pulezidenti era buno bukulembeze era obumanyirivu mu by’obukulembeze nina bwa maanyi.

 

Okuba nga wawangudde abantu abaasimbiddwawo ebibiina by’obufuzi nga NRM ne FDC kitegeeza ki gy’oli?

Abantu bakooye okutegeererwa buli kaseera. Okunnonda baalaze nti bamanyi kye baagala wadde balina ebibiina by’obufuzi gye bagwa. Omuntu bwobeera ng’oyimirirawo ku lwa bantu, bakunywererako era nga nange ekyampanguzza ndi muntu wa bulijjo.

 

Weerabawa mu maaso mu by’obufuzi byo? 

Nze siri munnabyabufuzi wabula ndi mukulembeze. Bwe ng’amba nti njagala kufuuka kino, kiba kitegeeza nti nnina bye neenoonyeza awamu n’okugezaako okutegeerera abalala.

Bye mbadde nyimbako bye ng’enda okwogerako, kyokka enjawulo ng’enda kubeera nga ndi mu ssuuti.

Ebintu bye mbadde nyimbako ebimu bibadde tebikwata ku nze ng’omuntu okugeza obwavu nyinza okuba nga nabuvaamu, kyokka numwa abakyabulimu nga banyigirizibwa.

Ekigendererwa kyange njagala kusitula balala.

 

Tukusuubire kukulabira mu kifaananyi ki olunaku lwonaasooka okugenda mu Palamenti? 

Ng’enda kujjira mu ssuuti yange nga nsibye n’ettaayi. Kano kagenda kubeera kabonero kakulu eri abantu abakola emirimu eginyoomebwa egy’omu Ghetto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo