TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Baabano abayimbi ne bannakatemba abaagala okuyingira ebyobufuzi

Baabano abayimbi ne bannakatemba abaagala okuyingira ebyobufuzi

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd July 2017

OLUVANNYUMA lwa Robert Kyagulanyi Ssentemu (Bobi Wine) okuwangula ekifo ky’omubaka wa Kyaddondo East, abayimbi ne bannakatemba abalala nabo bakwatiddwa omubabiro okuyingira olw’okaano lw’ebyobufuzi.

Howwe2d4bb30f1eccdb393e14e8618b3a38ec1491382434 703x422

King Saha (amannya Manisoor Ssemanda) atunuulira kya Kyotera mu 2021 era yazimbyeyo ennyumba nga yeetegekera okuttunka ne Minisita Haruna Kasolo.

Kigambibwa nti abamu ku bano baayogedde dda ne Bobi Wine n’abamatiza bayingire olwokaano.

Ronald Mayinja: Ono ku ntandikwa y’omwaka guno yalangirira nga bw’ayingidde DP era yayongera ne ku bitabo.

Atunuulidde Nansana Municipality naddala ng’akalulu kaddiddwaamu ne basazaamu Wakayima Musoke kyokka era n’e Gomba gy’azaalwa nayo alowoozaayo.

Geoffrey Lutaaya: Oluvannyuma lw’omubaka wa Kakuuto, Christopher Kalemba okusazibwamu kkooti, Lutaaya y’omu ku batunuulidde ekifo era alinze ekinaava mu kkooti ejulirwamu. Yaddayo okusoma okwewala okutawaanyizibwa ebitabo.

Abalala kuliko: Dr. Hilderman (Hillary Kiyaga) ayagala ekya Mawokota North naddala nga Amelia Kyambadde awummudde; King Saha (amannya Manisoor Ssemanda) atunuulira kya Kyotera mu 2021 era yazimbyeyo ennyumba nga yeetegekera okuttunka ne Minisita Haruna Kasolo.

Munnakatemba Patrico Mujuuka naye atunuulidde kuvuganya Nakifuma, Matthias Walukagga atunuulidde Kalungu East ekiikirirwa Vincent Ssempijja era alwana ku mpapula za buyigirize; ate Mikie Wine (Michael Mukwaya) naye ategeka kulumba Nakawa attunke n’owa FDC Micheal Kabaziguruka.

Kuno gattako abalala abaalaga edda obwagazi bw’ebyobufuzi okuli Eddy Yawe akyayagala ekya Kira Municipality awali Ssemujju Nganda, Ragga Dee, Zuliya Basiima Nakapanka naye ayagala eky’e Nakifuma, Katongole Omutongole ayagala eky’e Bbaale mu Kayunga ne Meddie Nsereko agambibwa nti ayagala kya Busiro North omuli Minisita Dennis Ggalabuzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda