TOP
  • Home
  • Agawano
  • Obulabirizi bw'e Mukono butongozza okulwanyisa ekisaddaaka baana

Obulabirizi bw'e Mukono butongozza okulwanyisa ekisaddaaka baana

By Saul Wokulira

Added 6th July 2017

OBULABIRIZI bw’e Mukono butongozza kaweefube ow’okulwanyisa ekibba baana n’ebikolobero ebirala ebibakolebwako.

Abasumbakkondessebulibanekiyagangabalimukatalekekayungaokutongozakawefubekubaanaekifsaulwokulira1 703x422

Abasumba okuva ku kkono; Kkonde, Ssebuliba ne Kiyaga nga bali mu katale

 

Mu kaweefube ono atuumiddwa 'Emmunyeenye y’Obulabirizi' mulimu n’okusomesa abazadde ku ngeri ey’okulabirira abaana n’okubakuuma okubatangira okukolebwako ebikolobero.

Kaweefube ono baamutongolezza Kayunga era bayise mu butale obwenjawulo nga basomesa abantu wamu ne mu ppaaka ya takisi gye bakoledde emirimu gya bulungi bwansi omubadde okuyoola kasasiro, okwera n’okugogola emyala.

Akulira pulogulaamu z’abaana mu bulabirizi bw’e Mukono, Rev. Wilson Kkonde y'akulembeddemu ebibinja ky’abasumba okubadde n’owe Namagabi; Moses Ssebuliba n’abantu baabulijjo okubadde Abakristaayo n’abamadiini amalala okutongoza kaweefube ono.

Rev. Kkonde agambye nti abazadde n’abantu abalala abakuuma abaana babagayaalirira ne batuusibwako ebikolobero omuli okubasaddaaka, okubasobyako n’obutabaweerera mu masomero nga beerabidde nti abaana abo ly’essuubi lya Uganda ery’enkya.

Akuutidde abantu bonna abakuuma abaana okubakuza mu mpisa ennungi nga babalambika ku bituufu ebisaanidde okukolebwa.

Rev. Kkonde agambye nti enteekateeka eno yaakubunyisibwa Obulabirizi bwonna obw’e Mukono era nga bateekateka kugitwala mu disitulikiti okuli; Buikwe, Buvuma ne Mukono.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....