TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka w’e Iganga, Grace Kaudha afiiridde mu ssanya

Omubaka w’e Iganga, Grace Kaudha afiiridde mu ssanya

By Kizito Musoke

Added 8th July 2017

PALAMENTI ya Uganda ebuutikiddwa entiisa, omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Iganga bw’afiiridde mu ddwaaliro ng’azaala mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga.

Kaudha1 703x422

Omugenzi Hailat Grace Kaudha abadde omubaka omukyala ow'e Iganga

Bya KIZITO MUSOKE NE TONNY TUMBYA
 
PALAMENTI ya Uganda ebuutikiddwa entiisa, omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Iganga bw’afiiridde mu ddwaaliro ng’azaala mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga.
 
Hailat Grace Kaudha (NRM) 30, abadde mu kisanja kye ekisooka. Sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga yabikidde Bannayuganda okufa kw’omubaka.
 
Yagambye nti babadde bamulinamu essuubi ddene kuba abadde akyali muto, naye nga mujjumbize nnyo.
 
Chris Obore, omwogezi wa Palamenti yagambye nti omugenzi eyabadde olubuto olukulu yafunye obuzibu mu lubuto n’addusibwa mu ddwaaliro lya Case Clinic.
 
Baatuseeyo nga tewali mukugu asobola kumulongoosa ne bamwongerayo mu ddwaaliro lya KCCA e Kawempe gye yafiiridde. Ye mubaka wa palamenti owookusatu okufa mu palamenti ye 10.
 
Yeegasse ku Anne Logiel (mukazi/Moroto) ne Cyrus Amodoi (Toroma).
 
Hajji Walubi Abubaker, ssentebe wa NRM mu disitulikiti eno agambye nti okuziika kwa ku Ssande mu limbo y’Abacotala (Iganga Cemetery).
 
Ate Margaret Nabirye omu ku booluganda lw’omugenzi ategeezezza nti omugenzi yaguddemu ekiddukano nga bw’asesema mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga ne Puleesa n’erinnya nga byandiba
nga bye byamuviiriddeko okufa.
 
Kaudha okujja mu Palamenti mu 2016 yawangula Olivia Kabaale Kwagala eyaliyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA