TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abagambibwa okutta Kaweesi bali mu kkooti ku by'okutugunyizibwa

Abagambibwa okutta Kaweesi bali mu kkooti ku by'okutugunyizibwa

By Alice Namutebi

Added 10th July 2017

Leero abantu 19 abagambibwa okutta eyali omwogezi wa Polisi, Andrew Felix Kaweesi lwe kuleetebwa ku kkooti Enkulu omulamuzi Marge Oguli awulire omusango gwokubatulugunyiza ku poliisi e Nalufenya.

Kyunya1 703x422

Abamu ku bagambibwa okutta Kaweesi nga balaga engeri gye batulugunyizibwamu. EBIF: JOSEPH MAKUMBI

Leero abantu 19 abagambibwa okutta eyali omwogezi wa Polisi, Andrew Felix Kaweesi lwe  kuleetebwa ku kkooti Enkulu omulamuzi Marge Oguli awulire omusango gwokubatulugunyiza ku poliisi e Nalufenya. 
 
Bano bagamba baakwatibwa okuva mu maka gaabwe ne batwalibwa mu balakisi gye baggyibwa ne batwalibwa e Nalufeenya ng'eno gye balumiriza nti baatulugunyizibwa. 
 
Bagamba nti tebafunanga bujjanjabi bumala omuli okujjanjjabibwa ebiwundu ebyabatuusiibwako, obugaali mwe batambulira naddala abo abamenyebwa amagulu era nabo abaafuna obuzibu mu maaso tegajjanjjabwanga. 
 
Basaba kkooti eragire bateebwe nga bagamba nti okubasiba e Luzira nga tebafuna bujjanjjabi kuba kutyoboola ddembe lyabwe era basaba n'okubaliyirira. 
 
Okusaba kwabwe kugenda kuwulirwa omulamuzi Margret Oguli. 
 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono