TOP

Bobi Wine afunye ddiiru e Turkey

By Ronald Mubiru

Added 13th July 2017

OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) olwamaze okulayizibwa n’alinnuya ennyonyi emututte e Turkey okubaako emirimu gy’akola.

Bobicelebrations1 703x422

Abantu ab’enjawulo nga basala kkeeki eyagabuddwa.

Bya RONALD MUGENYI

OMUBAKA Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) olwamaze okulayizibwa n’alinnuya ennyonyi emututte e Turkey okubaako emirimu gy’akola.

 

Bobi agenze ne mukyala we era basuubira okuyitirako mu Amerika gy’asuubira okusisinkana mikwano gye abeeko by’asakira ab’e Kyaddondo East abaamulonze okubakiikirira.

 Bobi Wine bwe yabadde mu bikujjuko by’okuwangula akalulu kano ebyabadde ku Ssaza e Kasangati, yeeyamye okukolagana ne banne be yawangula mu kalulu k’omubaka wa Kyaddondo East.

 obi ine yayimbiddemu abawagizi be ku kabaga arbie yafukamidde ngayebaza abawagizi oubawa akalulu astor muto lex ityo naye yabaddeyo nnyo Bobi Wine yayimbiddemu abawagizi be ku kabaga, Barbie yafukamidde ng'ayebaza abawagizi oubawa akalulu. Pastor muto Alex Kityo naye yabaddeyo nnyo

 

 

Yabadde ku bikujjuko oluvannyuma lw’okulayizibwa ebyabadde ku kisaawe ky’eggombolola y’e Kasangati ku Ssaza ku Lwokubiri.

 

Okukakasa bino, ababiri ku be yavuganya nabo, okwabadde

Sowedi Kayongo ne  mu bikujjuko bino era ne balinnya ne ku siteegi okuyozaayoza Bobi Wine.

 

Muwada bwe yaweereddwa akazindaalo yagambye nti; “ Eno essaawa ya kukola, si ya njawukana ate okuva lwe nakizuula nti ebigendererwa bya Kyagulanyi bye bimu n’ebyange nasalawo obutagenda mu maaso na kuwawaabira akakiiko k’ebyokulonda olwa

vvulugu eyalimu.”

 

Ate Sowedi Kayongo yagambye nti tasobola kuwakanya byava mu kulonda wabula n’asaba Kyagulanyi amwebuuzengako kubanga amusinga mu myaka.

 

 

Bobi Wine yatuuse ku Ssaze ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi, wabula kyamutwalidde eddakiika 50 okuva ku geeti okutuuka

awaabadde weema mwe yabadde alina okutuula olw’abantu abangi abaabadde bamulindiridde nga bwe bamuyozaayoza.

 

Mu weema yayaniriziddwa bannabyabufuzi omwabadde mubaka Micheal Kabaziguruka (Nakawa), Meeya w’e Kasangati, Tonny Ssempeebwa, Sowedi Kayongo, Meeya Charles Sserunjogi (Kampala Central) n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi