TOP

Owa Sserulanda afudde akukkuluma

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2017

BAMBI Baaba Baabuwe Mugonza eyatandika enzikiriza ya Sserulanda, afudde munakuwavu!

Sserulanda1 703x422

Pulezidenti lwe yasisinkana Sserulanda (ku kkono) n’akakiiko akaali kamunoonyerezaako.

Bya BASASI BAFFE
BAMBI Baaba Baabuwe Mugonza eyatandika enzikiriza ya Sserulanda, afudde munakuwavu!
 
Afudde abuzaayo ennaku 4 zokka aweze emyaka 80.
 
Enzikiriza eno yazimbirwa ku byamagero by’okuzuukiza abafu, kyokka Joseph Kaggwa Mugonza w’afiiridde ng’abawa ebyamagero by’okuzuukira bakendedde nnyo.
 
Bwe yaweereddwa ekitanda mu ddwaaliro e Mengo, abamu ku bagoberezi abatonotono abaakitegeddeko kyabakanze nnyo kubanga babadde baaliisibwa enjiri nti amaanyi ga ‘Beenunula Eyeenunula’ gamenya enjegere z’ebirwadde byonna nga togenze mu ddwaaliro era amaanyi ago nti ne gazuukiza n’abafu! Mugonza bwe yawulidde ng’anafuye nnyo, yawadde abayambi be ebiragiro okumuggya mu ddwaaliro e Mengo, bamuzzeeyo e Ssesamirembe - Kyotera era gye yafiiridde akawungeezi k’Olwokubiri.
 
Abamu ku bagoberezi bwe baalabye ng’azziddwa e Ssesamirembe ne baguma nti amaanyi agaziyiza okufa gagenda kwanguyirwa okuwonya omutandisi w’enzikiriza eyacaaka ennyo mu myaka gya 1980 ne 1990.
 
 jjinja segalaale e sesamirembe mu akai serulanda mwagamba nti mwe yabbulukuka Ejjinja Ssegalaale e Ssesamirembe mu Rakai, Sserulanda mw’agamba nti mwe yabbulukuka.

 

Abamu ku bagoberezi ba Sserulanda baategeezezza nti nga mukama waabwe nga tannafa, yasoose kubategeeza nga bw’anaatera okuva mu mubiri, agende asisinkane Sseruggulamiryango (gwe babadde batwala nga Yesu waabwe) amuggulire enzigi ezimuyingiza eggulu.
 
Rev. Dr. Bhuka Bijumiro Jjumiro abadde omuwandiisi wa Mugonza okuva mu 1983 yategeezezza Bukedde eggulo nti: Omutuukirivu akutudde akajegere akabadde kamugatta ku mubiri gwe; era tukimanyi nti kati ali wa Sseruggulamiryango; ky’ova olaba tetukaaba maziga.
 
Yagasseeko nti: ‘Omutuukirivu’ buli lw’abikkulira abantu ekkubo eribatuusa mu ggulu, omubiri gwe gufuuka ekyambalo era ekiseera kituuka ng’alina okuva mu kyambalo ekyo (okufa). Bijumiro yagambye nti ebbaluwa z’eddwaaliro zaalaze nti abadde atawaanyizibwa obulwadde bw’ensigo n’ekyenda okwesiba.
 
ENGERI GYE YATANDIKA SSESAMIREMBE
 
Mugonza yatandika enzikiriza eno nga December 25, 1975 bwe yamatiza abantu nti yabbulukuse bubbulukusi okuva mu jjinja Ssegalaale eriri e Ssesamirembe mu muluka gw’e Ndolo mu ggombolola y’e Kabira mu disitulikiti empya ey’e Kyotera eyasaliddwa ku Rakai.
 
Abantu bangi baamwegattako nga bamatidde nti akola ebyamagero omuli n’okuzuukiza abafu era abamu baasimula amalaalo ne batwala emirambo e Ssesamirembe agizuukize!
 
Yeerangirira nga bw’azze ku nsi okumegga okufa era n’atandika okulaga abamu ku bantu b’agamba be yazuukiza.
 
Bwe baateekawo akakiiko akanoonyereza ku Sserulanda mu 2008 akaali kakulirwa Polof. Nelson Ssewankambo abantu ab’enjawulo bajja ne bawa obujulizi nga bwe baazuukira.
 
Mu baawa obujulizi kwaliko Kasiimwe Semyanjo akuuma ennyumba mwe batereka emirambo eyitibwa Baloola eyategeeza akakiiko nti yafa mu 2003 n’amala ennaku ssatu nga mufu kyokka Mugonza eyali mu Amerika, yakuba essimu n’alagira Ssemyanjo azuukire era n’azuukira!
 
Yagobererwa Sebigemera Gema Ngemera Bigemero, eyategeeza akakiiko nti okuva lwe yeegatta ku Mugonza mu 1977 yaakafa enfunda ssatu kyokka nga Bambi Baaba Mugonza ayogera bwogezi kigambo, Bigemero n’azuukira!
 
Bwe baali mu kakiiko akaali kanoonyereza ku Sserulanda, baabatuma Mugonza alabikeko mu kakiiko wabula ne baanukula abaakakiiko mu Lungereza nti, “He will not come; he’s not a human being…” ekitegeeza nti, “Tagenda kujja, si muntu nga bwe mulaba abantu abalala…”
 
Ebimu ku byayatiikiriza enzikiriza eno, bwe butaziika mirambo nga bagikuhhaanyiza mu nnyumba, egimu ne bagikaza era mu gimu ku gyakazibwa kuliko n’ogwa Mama Nazaabu eyali mukazi wa Mugonza eyafa mu 1983 kw’ossa n’emirambo egyaggyibwa mu Amerika ebiri; ogwa Marion Hudraf ne George Smith Kyeyune.
 
Gertrude Njuba n’eyali Minisita Ssemakula Kiwanuka be bamu ku baakunyizibwa mu kakiiko ka Ssewankambo ku nkolagana yaabwe ne Sserulanda.
 
Mu nzikkiriza eno tebakkirizibwa kulya nnyama n’okuziika kivve.
 
Wabula Mugonza w’afiiridde ng’amateeka agamu bagenze bagakyusaamu era wadde babadde tebasima kinnya kuziikamu bafu, emirambo egimu babadde bagigalamiza ku ttaka olwo ne bazimba nga bambuka waggulu ne basaanikirawo wonna; ekifaananira ddala n’okuziika.
 ertrude juba omu ku baagoberera serulanda Gertrude Njuba omu ku baagoberera Sserulanda

 

AFUDDE AKUKKULUMIRA GAVUMENTI
 
Enzikkiriza eno etudde ku bwaguuga bw’ettaka era babadde baagala kugaziwa baweze mayiro z’ettaka 200 bazimbeko ekibuga eky’emirembe ekyatuumibwa ‘Lake Victoria Free Trade Zone.’
 
Ddiiru eno nti yalimu Abachina abaasuubiza Mugonza obukadde bwa doola 700 kyokka Mugonza afudde akukkulumira Gavumenti nti yalemesa ssente zino okuyingizibwa mu ggwanga.
 
Sipiika, Rebecca Kadaga bwe yagenda e Kyotera ku kabaga akayozaayoza Haruna Kasolo okufuuka omubaka mu 2011, Mugonza eyali ku kabaga ako yasisinkana Kadaga n’amusaba ajjukize Pulezidenti ku nsonga eno, wabula atuuse kufa nga teri kikoleddwa.
 
Abamu bakissa ku Mugonza nti yakozesa olukujjukujju n’ayita mu Sserulanda okutunza abantu ebyabwe ng’abasuubizza ebyamagero wabula ne bitabeerawo era ensimbi n’azikozesa okugula emmotoka ez’ebbeeyi nga Cross-Country n’okugendanga okuwummulako mu Amerika.
 
Mugonza abadde ayogera lunye nti yasisinkana Museveni e Rwakitura n’amumatiza ku pulojekiti y’okufuula Ssesamirembe ekibuga, wabula yeewuunya ate okusanga emiziziko egyalemesa enteekateeka eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nonya 220x290

Tunoonya abakyala abalina kebeekoledde...

Nneetaaga omukyala omukkakkamu, alabika bulungi, alina empisa okuva ku myaka 18 ne 28 omwetegefu okwekebeza omusaayi....

Lumba 220x290

Ekisenge ky’ekikomera kigwiiridde...

FFAMIRE ya bantu mwenda yasimattuse okufiira mu nju mwe baabadde beebase ekisenge ky’ekikomera kya kalina ebaliraanye...

Baana1 220x290

Byotalina kusuulirira ku mwana...

Omuzadde buli mutendera omwana gw’atuukako mu kukula kwe olina okwogerako naye.

Jjemba1 220x290

Omuyimbi Jjemba landiroodi amugoba...

OMUYIMBI omuto eyavuganya Fred Ssebatta, Vincent Segawa, Silvester Busuulwa, Mathias Walukagga, n’abalala mu mpaka...

Tigan2 220x290

Henry Tigan kati Ssaalongo

OMUYIMBI Henry Tigan ekiseera kya kalantiini akifunyeemu ebibala.