TOP

Ebyobugagga bya Sudhir ebyolekedde okugenda

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2017

Yadde Sudhir y’omu ku bagagga abasinga ku lukalu lwa Afrika, okumusesemya obuwumbi 400, tekijja kumuleka kye kimu.

Ruparelia1 703x422

Sudhir Ruparelia ne Mukyala we Jyostina ku mukolo ogumu

Bya MUSASI WAFFE

NGA bbanka ya Uganda enkulu eyagala kkooti ewalirize Sudhir Ruperalia aliwe obuwumbi 400, waliwo okutya nti engeri yokka ey’okusasulamu ensimbi zino yaakutunda ebimu ku byobugagga by’alina.

Yadde Sudhir y’omu ku bagagga abasinga ku lukalu lwa Afrika, okumusesemya obuwumbi 400, tekijja kumuleka kye kimu.

(Akatabo akanoonyereza ku bagagga mu nsi yonna aka Forbes kalaga mu kkampuni ye eya Ruparelia Group of Companies gy’akulembera, Sudhir ye muggagga asinga mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Afrika omuli Kenya, Uganda, Tanzania, Rwanda, Burundi, Zambia ne Malawi).

Sudhir agambibwa nti y’asinga amayumba amangi mu ggwanga era ssente z’ayingiza omwaka, zenkana n’ezo Uganda z’eyingiza omwaka ng’etunda emmwaanyi n’amajaani e Bulaaya, bwe bukadde 400 obwa doola).

 kizimbe kya ardware laza ekisangibwa e akasero ku luguudo lwa inai bin mir Ekizimbe kya Hardware Plaza ekisangibwa e Nakasero ku luguudo lwa Sinai bin Amir.

 

Bbanka ya Uganda enkulu erumiriza Sudhir okweguza bbanka ye yennyini mu ngeri etegoberera mateeka ekyavaako bbanka eno eya Crane okugwa, bbanka enkulu n’egyeddiza omwaka oguwedde n’oluvannyuma n’egiguza Dfcu.

Nga June 30, 2017 bbanka enkulu ku lwa Crane Bank yatutte Sudhir mu kkooti y’ebyobusuubuzi nga balumiriza nti ng’akozesa kkampuni ye eya Meera Investments ne kkampuni endala ze yategeeza nti za bantu balala kyokka oluvannyuma ne kizuulibwa nti zaali zize, yaggyanga ssente mu bbanka eno n’azikozesa nga bw’alaba ekintu ekimenya amateeka agafuga bbanka n’ebitongole ebiwola ensimbi.

Mu ngeri y’emu yaddiranga kkampuni zino n’aziwa emirimu ng’omuli okuzimba amatabi ga bbaka n’okuleeta tekinologiya ow’omulembe n’aziwa ssente ezisusse kyokka nga zonna gye ziggweera zigenda mu nsawo ye ng’omuntu.

Sudhir era yakwata ebyapa by’ettaka byonna okuli bbanka ya Crane n’abikyusa n’abissa mu mannya ga kkampuni ye eya Meera Investments olwo yo kkampuni ye ate n’ewa liizi bbanka ng’erina okugisasula obukadde 100 ate n’amatabi gano okugaggyako obusuulu bwa buli mwaka obwa ddoola $6,000.

Ebirala ebimuvunaanibwa kwe kubeera nti ssente z’abakozi obuwumbi 50 ze yalina okubaterekera mu kitongole kya NSSF ekitereka sente z’abakozi teyaziteekayo, bbanka okuva lwe yatandika mu 1995 Sudhir y’abadde nnannyini migabo gyonna ekintu ekikontana n’amateeka agafuga bbanka.

Ono bamuvunaanira wamu n’abalala b’abadde akolagana nabo mu mivuyo gino okuli Godfrey Kirumira n’abalala b’abadde awola ssente nga tebagoberedde mitendera mituufu.

Omusango baagukwasizza Omulamuzi David Kutosi Wangutsi, akulira kkooti eno era ng’akyakulira kkooti ewozesa abakenuzi, ye yawozesa Geoffrey Kazinda eyavunaanibwa emisango gy’obufere n’okubba ssente n’amusiba emyaka 5.

 kizimbe kya ardware ity okuliraana omuzikiti gwe akasero mu ampala Ekizimbe kya Hardware City okuliraana omuzikiti gw’e Nakasero mu Kampala.

 

Sudhir akyalinawo omukisa okutuula ne bbanka enkulu ensonga ne bazimalira ebweru wa kkooti singa akkiriza okusasula.

Bwe kirema ng’Omulamuzi agenda mu maaso n’okuwulira omusango ng’agusala.

Emivuyo mingi egirambululwa mu mpaaba ya bbanka enkulu okuli okujingirira ebiwandiiko, okuwuwuttanya ensimbi, okuggya ssente z’abantu ze batereka mu bbanka mu ngeri emenya amateeka n’emirala.

Singa emisango gimumegga, ebyobugagga bye omuli ebizimbe byandirugenda!

Abasuubuzi abakolagana ne Sudhir basattira

NG’OGGYEEKO abagagga naddala aba Kwagalana ababadde bakolagana ne Sudhir obutereevu abalabika nti bbanka bw’esalawo okubowa ebyobugagga bye bakaaba, waliwo abasuubuzi abalala bangi ababadde baddukirayo okubafunira ku ssente ze bakozesa nga tebayise mu mitendera gya bbanka emijjuvu.

Bano nabo kati basattira

Okuva Sudhir lwe yatandika okufuna ebizibu bbanka enkulu n’eggala Crane Bank, ebizimbe ebyenjawulo mu Kampala bizze bitundibwa kumpi ku nnyondo n’abamu okuggalawo bizinensi zaabwe.

Ebyobugagga bya Sudhir ebitunuuliddwa ng’ebizimbe bwe bigenda, ne Bannayuganda bangi abagenda okukaaba olw’embeera eno. Ekiseera kino abamu bafiiriddwa emirimu nga tebannaba kwekakasa kiddako mu bulamu bwabwe.

Abalala basazeewo kwekweka abababanja waakiri ekyosi kiyite. Olukalala lw’abasuubuzi n’abantu abalala lugenda kweyoleka ng’omusango gutandise okuwulirwa mu kkooti.

 peke esort e unyonyo Speke Resort e Munyonyo.

 

OLUKALALA LW’EBYOBUGAGGA BYA SUDHIR

  • Ekizimbe kya Crane Towers ku Kampala Road
  • City House mu Kampala okuli ekitebe kya DP
  • Wooteeri ya Kabira Country Club e Bukuto
  •  Speke Hotel mu Kampala
  • Speke Resort and Conference Center Munyoyo. Eno eri ku ttaka lya yiika 70 ng’ebalirirwamu obukadde bwa ddoola 150.
  • Ku wooteeri eyo kuliko ekidiba ekiwugirwamu ekigambibwa nti kye kyokka mu mawanga g’obuvanjuba n’amasekkati ga Afrika ekisobola okuwugirwamu empaka ng’eza Olympics. Eriko ‘paakingi’ y’amaato ga lugogoma n’amatono.
  • Yalina bbanka ya Crane Bank eyamuggyiddwaako gye buvuddeko wabula ng’egambibwa nti y’ebadde ekwata ekyokusatu mu bunene mu ggwanga.
  • Y’abadde nnannyini kibanda ekivungisa ssente ekya Crane Forex Bureau
  • Kkampuni ya yinsuwa eya Gold Star Insurance
  • Dehli Public International School- Naggulu
  • Kampala International School
  • Kampala Parents’ School
  • Meera Investments Limited
  • Kkampuni y’ebimuli eya Rosebud Limited e Kawuku.
  • Sanyu FM
  • Tourist Hotel
  • Victoria University Uganda
  • Alina ebintu ebiri ng’ebyo mu mawanga ag’enjawulo nga Rwanda , South Sudan n’ebitonotono e Bungereza saako United Arab Emirates.
  • Ebizimbe omuli Speke Apartments ku Wampewo Avenue, Kampala Blouvard.

 

 

 ity ouse okuli ofiisi za  mu ampala City House okuli ofiisi za DP mu Kampala.

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...