TOP

Ayokezza olusuku lwa mukulu we lwa ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 13th July 2017

Poliisi mu Disitulikiti Lyantonde eri ku muyigo gw’omuvubuka eyakumye omuliro ku lusuku lw’amugandawe.

Lusukuburnt1 703x422

Olusuku olwayokeddwa

Bya Pascal Lutabi

Poliisi mu Disitulikiti Lyantonde eri ku muyigo gw’omuvubuka eyakumye omuliro ku lusuku lw’amugandawe. 


Twaha Kayiwa omutuuze ku kyalo Kalagala e Lyantonde yanoonyezebwa poliisi  ng’alangibwa ku kuma muliiro ku lusuku lw’amugandawe, olusangibwa kukyaalo Kalagala ekiri mu muluuka gwe Lyantonde Rural .

Okusinziira ku Baker Ssebuliba gwe bayokereza olusuku yategezezza Bukedde ng’entaalo z’ettaka ze balina Kivumbi bweziyinza okuba nga zezaviriddeko okwokya olusuku lwe, oluli ku bugazi bwa yiika
mukaaga.
Baker agamba nti balinawo embiranye  wakati waabwe nga ziva ku ttaka erikaayanirwa, kitaabwe lye yabawa.


Omutuuze Tanansi Mujuzi, yategezezza nti yasanze Kayiwa ngali n’abaana be okumpi n’olusuku lwa mutoowe, Ssebuliba, ngalukumako omuliro, bweyabade alunda enteze ku ttale eririraanyewo, era olwamulabye neyemulula nadduka.


Olive Namulema muliraanwa wa Ssebuliba , yategezezza nga bwe bagezezzaako okudduukirira bazikize omuliiro naye nga teguzikira okutuusa olusuku lwonna bwe lwawedewo.


Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Lyantonde Yunus Kayanja yategezeza nga poliisi bweri ku muyigo gw’omusajja ono, eyadduse, era ng’agamba nti bwanakwatibwa ajjakuvunanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam

Dot1 220x290

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda...

Ebyokutambula bino byetaagamu kasooda