TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ddereeva n'abafamire 3 bafiiridde mu kabenje ku lw'e Masaka

Ddereeva n'abafamire 3 bafiiridde mu kabenje ku lw'e Masaka

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2017

DDEREEVA n'abafamire basatu bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Nkalwe ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.

Moto1 703x422

Takisi eyatomeraganye n'eya buyonjo ne yeefula enfunda eziwera. EBIFAANANYI BYA FLORENCE TUMUPENDE

BYA FLORENCE TUMUPENDE

DDEREEVA n'abafamire basatu bafiiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Nkalwe ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.

Ddereeva naye talutonze ate abasaabaze 10 ne baddusibwa mu ddwaaliro e Masaka nga biwalattaka.

Abafiiridewo kuliko; Naphtal Sserugendo ng’ono abadde abulayo ennaku ttaano aweze emyaka 65, Cilus Sseruhinza (45), Nasande ow’emyezi esatu nga bonna ba famire emu kw'ossa ne ddereeva ataategeerekese mannya.

Kigambibwa akabenje kaavudde ku takisi nnamba UAW 361B eyabadde eva e Masaka ng’ewenyuka obuweewo n'egezaako okuyisa mmotoka ya buyonjo bw'etyo ne yeecanga n'etomeragana ne mmotoka endala ey'ekika kya Premio nnamba UAY 613L ng'eno yabadde eva e Mbarara kyokka nga nayo egezaako okuyisa Fuso etaategerekese nnamba. Takisi yeefudde emirundi egiwera.

 remio eyatomereganye ne takisi bwenyi ku bwenyi Premio eyatomereganye ne takisi bwenyi ku bwenyi

 

Akabenje kaaguddewo ku ssaawa 10:30 ezikeesezza olwaleero ku Ssande wabula abadduukirize abanditaasizza abantu ate bazze mu kunyagulula bintu by'abagenzi.

Poliisi ya tulafiki, ng’ekulembeddwaamu akulira ebidduka mu Lwengo, Reinhold Rwakirenzi, etuuse awagudde akabenje n'ekwata Davis Atwine omugoba wa mmotoka ya Premio emu zaavuddeko akabenje.

Atwine bamusanze yeekukumye mu kasiko ng’ono asoose kwezooba n’abasirikale ng'agamba nti si ye nnannyini wabula mudduukirize.

Wabula olulabye nga mmotoka ye esikibwa kabangali ya poliisi kwe kukuba omulanga nga yeegayirira abasirikale obutatwala mmotoka ye era gye biggweeredde ng'emikono bagizzizza gye gitaliira ntungo naye n'atwaliba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini