TOP

Avunaanibwa okubba emmotoka abbye ne ttivvi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th July 2017

OMUKAZI agambimbwa okubba emmotoka mu Kampala bazzeemu okumukwata ng’afeze omusuubuzi n’amubbako ttivvi oluvannyuma n’amuwa ceeke enfu.

Nampinga1 703x422

Nampinga baamukutte lwa kufera musuubuzi.

Bya SHAMIM NABUNYA

OMUKAZI agambimbwa okubba emmotoka mu Kampala bazzeemu okumukwata ng’afeze omusuubuzi n’amubbako ttivvi oluvannyuma n’amuwa ceeke enfu.

Racheal Nampinga 39, owa Blue Homing birds e Muyenga yatwaliddwa ku poliisi y’e Katwe oluvannyuma lw’okufera omusuubuzi Kasim Lule ku dduuka lya Capital Central mu Kampala.

Nampinga omutuuze w’e Kisaasi mu Kitosi Zooni yakwatiddwa e Kisubi mu mmotoka ye ng’agenda ku kisaawe e Ntebe okulinnya ennyonyi ave mu ggwanga.

Poliisi yamukiise kabangali yaayo n’atwalibwa ku poliisi e Katwe. Kasim Lule omusuubuzi wa ttivvi ku dduuka lya Capital Central yategeezezza poliisi nti; “Nga April 4, 2017, mukwano gwange Sandra yajja ne Nampinga ne nnamwandu wa Kafeero, Robinah Bisirikirwa okugula ttivvi.

Nampinga yantegeeza nga ssente bwe zitali zaabuliwo. Namuwa ttivvi 11 nga zibalirirwamu 15,500,000/- n’ampa ceeke kyokka bwe nagenda mu bbanka ya KCB ne bantegeeza nti akawunti ye tekuli ssente era bagibanja!

Nakubira Nampinga essimu ne mmutegeeza nti ceeke gye yampadde nfu.

Yanziramu nti tajja kunsasula era ssente nzeerabire kubanga alina abanene mu Gavumenti siyinza kumusobola.

Nagenze ku poliisi y’e Katwe ne nzigulawo omusango ku fayiro nnamba SD: 37/29/06/2017.

Poliisi yamulinnye akagere okutuusa lwe yamukutte,” Lule bwe yategeezezza.

Gye buvuddeko Nampinga yakwatibwa Flying Squad e Katwe mu bubbi bw’emmotoka ng’omusango guli ku fayiro nnamba GEF 105/2016 kyokka n’ateebwa ku kakalu ka poliisi.

Nampinga bwe yatuusiddwa ku poliisi y’e Katwe, yategeezezza nti Lule tamumanyi era n’edduuka lye talimanyi.

Yagambye nti Lule agenderera kumwonoonera linnya. Akuumibwa ku poliisi y’e Katwe nga bwe banoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba