TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni akungubagidde Sserulanda owa Ssemirembe

Museveni akungubagidde Sserulanda owa Ssemirembe

By John Bosco Mulyowa

Added 17th July 2017

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni awaddeyo amabugo ga bukadde 10 eri abenzikiriza ya Sserulanda e Ssessamirembe e Kyotera ng’abakubagiza olw’okufi irwa omutandisi waayo Joseph Kaggwa Mugonza.

Kasolo1 703x422

Minisita Kasolo ng’akwasa Rev Dr Bhuka bijumiri jumiro amabugo g’obukadde 10 Pulezidenti ze yabawadde.

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni awaddeyo amabugo ga bukadde 10 eri abenzikiriza ya Sserulanda e Ssessamirembe e Kyotera ng’abakubagiza olw’okufi irwa omutandisi waayo Joseph Kaggwa Mugonza.

Ono abakulu mu nkiriza eno baagaanyi eby’okumuziika n’okumukaabira era nga mu nteekateeka yaabwe bakkaanyizza obutamuziika wabula okukaza omubiri gwe emyaka okumala 2 ku 3.

Obubaka bwa Pulezidenti Museveni bwetikkiddwa Minisita wa Micro Finance Haruna Kyeyune Kasolo ng’ono yabadde n’abakulembeze abalala okwabadde Racheal Nakitende ne Kintu Kisekulo abaatutte ensimbi zino ne bazikwasa bakulu ba Sserulanda.

Minisita Kasolo ne banne baasoose kulambula kifo kino ne babuuza ku bakkiriza ab’enjawulo omuli n’abavubuka abaasangiddwa mu lukiiko wakati mu kibira.

Minisita Kasolo era yasisinkanye ne nnyina wa Mugonza nnamukadde Tweyanze eyabadde mu nnyumba n’amwanjulira obubaka bwa Pulezidenti n’amusiima okujjukira mukwano gwe ono kuba yamukuumirako bazadde be okumala ekiseera mu budde bw’olutalo!

Minisita oluvannyuma yagenze mu ofiisi n’ayanirizibwa Ssaabawaandiisi w’enzikiriza eno, Rev. Dr. Bhuka Bijumiro Jumiro ng’ono yasoose kumuwabula nti bbo tebagamba nti kitalo wabula okugamba nti Butebenkevu Buteefu olwo bbo ne baddamu nti "tuli baana ba Sserulanda"n’oluvannyuma n’amukwasa ettu lino okuva ewa Pulezidenti.

Dr. Bijumiro yasiimye ettu lino n’ategeeza nti basanyufu Museveni okujjukira musajja we, Mugonza ne bategeeza nti n’ekiwandiiko kyabawadde okubasaasira kibawadde ekitiibwa era nga baakukiteeka ne mu bitabo byabwe ate n’ensimbi okuzikozesa obulungi.

Museveni yasiimye Mugonza olw’okubeera omusajja ow’amagezi ennyo eyasobola okukozesa amagezi okuwa obujjanjabi eri ababa balwadde endwadde ez’enjawulo ne bawona n’asaba abasigaddewo amagezi gano okugitwala mu maaso.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana