TOP

Abasaabaze basimattuse akabenje mu Lwera

By Musasi wa Bukedde

Added 19th July 2017

TAKISI ebadde ewenyuka obuweewo ekutuse ekyuma ne yeefuula emirundi egiwera, abasaabaze ne basimattuka n’ebisago.

Kagudde1 703x422

Abamu ku baabadde mu takisi eno.

Bya Musasi waffe
 
TAKISI ebadde ewenyuka obuweewo ekutuse ekyuma ne yeefuula emirundi egiwera, abasaabaze ne basimattuka n’ebisago.
 
Samuel Eyotu, akulira poliisi y’ebidduka mu Kalungu yagambye nti akabenje kano kaagudde mu Lwera ku lw’e Masaka.
 
Takisi nnamba UAZ 910B eyabadde eva e Kampala ng’edda Masaka yakutuse ekyuma ekigatta emipiira gy’emabega ku yingini.
 
Abantu abasoba mu bataano be baalumiziddwa nga ku bano kuliko Muhammad Kisakye ow’e Makindye, Sarah Nakimbugwe, Viola Nansubuga, Mariam Katushabe n’abalala.
 
Baddusiddwa mu ddwaaliro lya Lukaya Health Center III gye baafunidde obujjanjabi obusooka ne babongerayo e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Apass1 220x290

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

A Pass yeegobye mu luyimba lwa...

A Pass atabukidde Bebe Cool ku luyimba lwa ‘Corona Distance’, amulanga kumugattika na Fresh Daddy gw'ayita kazannyirizi...

Kagame 220x290

E Rwanda bongezzaayo kalantiini...

Gavumenti ya Rwanda yalangiridde nti eyongezzaayo ennaku abantu ze balina okumala nga tebava waka okutuuka April...

W1240p169s3reutersmedianet68 220x290

Coronavirus: World Bank ewadde...

Bbanka y’ensi yonna yawadde Kenya obuyambi bwa doola za Amerika obukadde 50 okuyambako mu kutangira okulwanyisa...

Kyuka 220x290

Abantu 1,000 bafudde Corona mu...

ABANTU 1,047 olufudde mu Amerika ebintu ne bikyuka. Trump obuyinza bw’okuteekawo kalantiini n’okusibira abantu...