TOP
  • Home
  • Agawano
  • Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao bamuggalidde

Poliisi yezoobye n'aba DP: Mao bamuggalidde

By Musasi wa Bukedde

Added 20th July 2017

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao bamuggalidde.

Mao1 703x422

BYA ALLAN LUSWATA

Kino kiddiridde Mao ne Banna Dp abalala okutongoza enteekateeka y'okusimbira ekkuuli kaweefube w'okukyusa ssemateeka w’eggwanga naddala akawaayiro akakugira Pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo mu 2021 ne bw'anaaba asussizza emyaka 75.

Wadde nga biri bityo, eggulo Museveni yayanukudde abagamba nti ayagala kukyusa Ssemateeka w’eggwanga aggye ekkomo ku myaka 75, n’ategeeza nti ababyogera tebalina byakukola, bamala googera buli kye basanze.

Museveni yasinzidde mu kutongoza enkola ya ‘Giants Club Conservation and Tourism Investment Forum’ mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.

Yategeezezza nti, yeewuunya abantu abamala obudde nga boogera ku byobufuzi buli kiseera, n’agamba nti ye yeemalidde mu kuweereza Bannayuganda kuba kye kyamulondesa.

Mao akyakuumibwa ku Poliisi ya CPS mu Kampala.  

 
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...