TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Aba NRM ababeera ebweru bakoze enkyukakyuka mu bukulembeze

Aba NRM ababeera ebweru bakoze enkyukakyuka mu bukulembeze

By Muwanga Kakooza

Added 20th July 2017

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri Jennifer Lynn Nabisere ku bumyuka bwa ssentebe w’ekibiina mu nsi yonna.

Nrmnabiserejenniferlynn 703x422

Nabisere ne Kitungulu abagudde mu bintu

ABA NRM ababeera mu mawanga g’ebweru bakyusizza mu bakulembeze baabwe ne balonda ssentebe w’ettabi lyabwe e Misiri Jennifer Lynn  Nabisere ku  bumyuka bwa ssentebe w’ekibiina mu nsi yonna.

Nabisere nga y’abadde amyuka nampala w’ekibiina kino, kati y’agenda okumyuka Ssentebe waakyo ow'ekiseera, Mw. Patrick Asiimwe era ng’azze mu kifo kya  Mw. Yusufu Musoke aweereddwa obuvunaanyizibwa obulala, kyokka nga n’ekifo ky’okukulira ettabi ly’ekibiina ery’e Misiri  akisigaddeko.

Omwogezi w’ekibiina kino ow’ekiseera Mw. Moses Kimuli ategeezezza nti mu nkyukakyuka ze zimu, Mw. Keith Kitungulu ow’e South Africa y’afuuse omumyuka wa nnampala waabwe  era nga bino bikoleddwa ng’ekibiina bwe kyetegekera okulonda kwa bonna okubindabinda.

Kimuli agambye nti enkyukakyuza zino era zigendereddwaamu okwongera okussa abakyala ku mwanjo mu kibiina nga bw’eri enkola ya NRM.

“Mw.  Edris Kironde abadde omukunzi w’abantu naye akwasiddwa emirimu emirala mu kibiina nga bwe bagenda mu maaso n’okulambika enzirukanya y’emirimu mu kibiina enaayongera okubakulaakulanya,” Kimuli bwe yategeezezza.

N’agattako nti bino byonna bikoleddwa okwongera okunyweza ekibiina ebweru wa Uganda n’okulaba nga kisigala kiweereza bulungi  bammemba n’eggwanga Uganda.

Asabye abo bonna abaweereddwa obuvunaanyizibwa okubutuukiriza era n’abaagaliza okuweereza obulungi okulaba nga tebava ku mulamwa ogw'okwegatta n’okukulaakulana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 220x290

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi...

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...

Jmcweb 220x290

Kyetume ekutudde JMC Hippos

Kyetume evudde emabega n'ewangula JMC Hippos mu Big League mu ddakiika ezisembayo

Joshuaweb 220x290

Cheptegei ataddewo likodi ng'awangula...

Joshua Cheptegei ataddewo likodi y'ensi yonna empya, ng'awangula kiromita 15 mu misinde gya 2018 NN Seven Hills...

2016manujoseshout1 220x290

Veron ayogedde lwaki ManU evumbeera...

Veron akubye ebituli mu kisanja kya Mourinho mu ManU.