TOP
  • Home
  • Agawano
  • UNEB efunye ekyuma ekikuba ebibuuzo: Kye kisinga obunene mu Afrika

UNEB efunye ekyuma ekikuba ebibuuzo: Kye kisinga obunene mu Afrika

By Lawrence Kitatta

Added 23rd July 2017

Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odongo, yategeezezza nti ekyuma kino ekikuba ebigezo kye kisinga obunene mu Afrika.

Laga 703x422

Minisita Janet Museveni (mu ggaalubindi) ng’addiriddwa Polof. Okwakol mu kutongoza ekyuma.

MINISITA w’ebyenjigiriza, Janet Kataha Museveni atongozza ekyuma ky’ekitongole ky’ebigezo mu ggwanga (UNEB) ekikubira wano ebibuuzo.

Ku mukolo, abakungu ba UNEB bamulaze n’ebikyabulamu okulongoosa ebyenjigiriza mu ‘bonna basome.’

Ekyuma kino ekyawemmense obukadde bwa Doola 2 kyazimbiddwa aba Hypoted Imaging Solution.

Ssaabawandiisi wa UNEB Dan Odongo, yategeezezza nti ekyuma kino ekikuba ebigezo kye kisinga obunene mu Afrika.

Yeebazizza Gavumenti olw’okussa amaanyi mu kuzimba ekyuma kino n’agamba nti kigenda kuyambako okukeendeeza ku bubbi bw’ebigezo ne ssente empitirivu ezibadde zisaasaanyizibwa mu kukuba ebibuuzo buli mwaka ebweru w’eggwanga.

Ategeezezza nti ebibuuzo bibadde bikubirwa Bungereza okuva mu 1994, UNEB lwe yatongozebwa okutuuka mu 2007 ebibuuzo ebyasooka lwe byakubirwa wano era nga kitaddewo enjawulo nnene ddala.

Polof. Mary Okwakol ssentebe wa UNEB yalaajanidde minisita okuzimbira abakozi abakuba ebibuuzo amayumba okumpi kiyambe mu kubakuuumira okumpi n’okukendeeza obubbi bw’ebigezo.

Era yasabye n’okwongeza abakozi omusaala kuba bangi ababadde abakozi abalungi babadduseeko ne babaleka mu bbanga olw’omusaala omutono ogubasasulwa ekisannyalaza emirimu gy’ekitongole.

Minisita Janet Kataha Museveni yeebazizza abakungu bano emirimu gye bakola n’abayozaayoza okufuna ekyuma kino eky’omulembe wabula n’abasaba okukikuuma obulungi n’okukiddaabiriza buli kiseera nga bakozesa abakugu abaakizimbye.

Yabagumizza ku bizibu bye bamwajulidde n’abakakasa nti byonna Gavumenti ebimanyi ate yabissa ku mwanjo mu manifesito yaayo n’abakakasa nti bijja kukolwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’