TOP
  • Home
  • Agawano
  • Minisita asabye okujumbira okugula ebikolebwa mu ggwanga

Minisita asabye okujumbira okugula ebikolebwa mu ggwanga

By Edward Luyimbazi

Added 23rd July 2017

MINISITA omubeezi ow’ebibiina byobwegassi, Fredrick Gume Ngobi akuutidde Bannayuganda okutandika okugula ebintu ebikolebwa wano mu ggwanga okusobola okukendeeza ku ssente ezifuluma mu ggwanga nga basuubula.

Wamu 703x422

Okuva ku kkono ye Irene Matovu, Polof. Luboga, minisita Gume, Chrisitine Luboga ne Margret Zziwa nga basala keeki.

Okwogera bino yabadde ku Kaleerwe ng’ayogera eri abantu beetabye ku mukolo gwa Chrisams Designs LTD abatunga engoye ez’ebika eby’enjawulo nga bajaguza emyaka 30 bukya batandika kwenyigira mu mulimu guno.

Guma yagambye nti mu Uganda waliwo ekizibu ky’abantu abasuubula ennyo emivumba okuva wabweru nga kino oluusi kivaako okugootaanya ssente ya Uganda, n’ategeeza nti mu mbeera eno kiba kirungi abantu okugula ebintu ebikolebwa mu Uganda.

Yategeezezza nti minisitule y’ebyenjigiriza yandikyusizza ensomesa y’abaana mu masomero batandike kwettanira mirimu gya mu mutwe okusinga okusomesa amasomo.

Gume asuubizza nga minisitule ye bw’egenda okutandika okuwagira buli Munnayuganda alina ebintu by’akola okubinoonyeza akatale okusobola okwongera ku nnyingiza y’ensimbi mu ggwanga n’okukendeeza okusuubula ennyo ebintu mu mwanga g’ebweru.

Christine Luboga akulira Chrisams Designs LTD yategeezezza nti batendese abantu bangi emirimu gy’omu mutwe n’engeri gye bayinza okuddukanyamu bizinensi zaabwe.

Omukolo gwetabiddwaako Margaret Zziwa eyaliko Sipiika wa palamenti ya East Africa eyasiimye aba Chrisams Designs LTD nti mu myaka 30 bakoze kyamanyi okutumbula abaana b’obuwala okubafuula eky’enjawulo n’okubayigiriza okwetandikirawo emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’