TOP

Omuyizi wa S5 bamusobezzaako ne bamutta

By Deborah Nanfuka

Added 23rd July 2017

OMUWALA asoma S5 bamusobezzaako ne bamutta e Nkumba ku luguudo lw’eNtebe.

Ma 703x422

Wanyana eyattiddwa.

OMUWALA asoma S5 bamusobezzaako ne bamutta e Nkumba ku luguudo lw’eNtebe.

Norah Wanyana 18, abadde asomera mu Air Force SS e Ntebe ng’abeera mu Central Zooni e Nkumba ye yattiddwa.

Wanyana yakomyewo okuva ku ssamero ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo ku Lwokuna era bwe yatuuse awaka ne yeeyambula yunifoomu nnyina n’amutuma okugula emmere okumpi ne we basula.

Ku ssaawa nga 1:00 ey’akawungeezi yagenze ku mudaala we batunda amatooke n’agagula nga kirowoozebwa nti yabadde addayo awaka n’asanga abantu abaamusobezzaako ne bamufumita ekiti mu mbugo ne bamutta, omulambo gwe ne bagusuula mu bitooke okumpi n’amalaalo.

Jane Kamariza, mukwano gw’omugenzi atunda edduuka w;abadde atera okubeera ng’avudde ku ssomero yagambye nti ku dduuka teyabaddewo era lyabadde liggale.

Kamarizi yagambye nti Wanyana abadde mwana wa mpisa ng’amuleka mu dduuka n’atunda kyokka nga tasobola kulya yadde swiiti nga tamumusabye.

N’agamba nti ne ssente ezigula emmere ng’asooka kuzimusaba wadde aba azirabako mu dduuka.

Maama w’omugenzi, Florence Nankya Masembe yagambye nti yakanze kulinda muwala we eyagenze okugula emmere nga tamulaba kwe kusalawo okugenda ku poliisi.

N’agamba nti teyakombye ku tulo era zaabadde ziwera ssaawa 11:00 ez’oku makya ne bamukubira essimu okumutegeeza nga muwala we bwe yattiddwa era n’amubuulira n’engoye ze yabadde ayambadde.

Yategeezezza nti muwala we abadde atunda ebyokulya ku ssomero nga ssente ezivaamu azimuwa n’ayamba ku bato be okugula ebintu ebyetaagisa ku ssomero nga bwe baba bakkaanyizza.

Wanyana abadde ayagala kuvuganya ku bwa headgirl bw’essomero era abadde muwala mulokole.

Omwaka oguwedde teyagusoma kuba tebaalina ssente n’asaba nnyina atuule bato be basome bave mu bibiina ebya wansi ng’amuddaako ali mu S4 n’asembaayo wa P6.

Mu kitundu kino baakatta abawala basatu nga basooka kubasobyako, nga mu kifo we baamuttidde waabaddewo ensiitaano.

Akulira bambega ba poliisi e Ntebe Zakaliya Mbabazi yagambye nti bakutte owa bodaboda omu nga baalabye Wanyaga ng’alinnya pikipiki ye. Nga bagamba nti ye yeekobaanye n’abamusse.

Yaziikiddwa e Togo Luweero eggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’