TOP

Abalamuzi bawadde Gavumenti ennaku 30

By Ahmed Mukiibi

Added 24th July 2017

ABALAMUZI batabuse! Bawadde gavumenti nsalessale wa nnaku 30 zokka nga bongezeddwa omusaala n’ensako.

Gala 703x422

Abamu ku balamuzi nga bakuba akalulu okusalawo ku kwekalakaasa.

Kino kirangiriddwa nga gavumenti yaakamala okugulumba n’okwediima kw’Abawaabi b’emisango gya gavumenti, abaatadde wansi ebikola okumala wiiki nnamba okuva nga July 10 okutuuka July 17, lwe bazzeemu okukola oluvannyuma lwa gavumenti okukkiriza okubongeza emisaala n’ensako.

Gavumenti yakkirizza okulinnyisa emisaala gy’abawaabi b’emisango ng’abadde asembayo okufuna omusaala omutono ogwa 550,000/- waakufuna 3,500,000/- buli mwezi.

Kino kyasaliddwaawo mu lukiiko lwa Baminisita era Katikkiro Ruhakana Rugunda n’abatuusaako amawulire.

Wabadde waakayita wiiki emu yokka ng’Abawaabi b’emisango gya Gavumenti bakkirizza okudda mu mirimu, ate abalamuzi ne basitula enkundi nga bagamba nti ky’ekiseera nabo gavumenti okutunula mu nsasula yaabwe kubanga mbi nnyo era eswaza.

Nsalessale abalamuzi gwe bawadde gavumenti atandise olwaleero nga July 24 nga waakuggwaako August 23, 2017.

Okutuuka okuwa gavumenti nsalessale, abalamuzi okuviira ddala mu ba kkooti ey’oku ntikko okutuuka ku balamuzi ab’eddaala erisooka n’abakozi ba kkooti abalala baamaze kutuula mu lukiiko lw’ekibiina mwe beegattira ekya Uganda Judicial Officers Association (UJOA).

Ennamusa yatuuse ku nnyooge, abalamuzi bwe baasazeewo ensonga okugikubako akalulu, abalamuzi 185 ne basemba okuwa gavumenti omwezi gumu gwokka okubongeza omusaala.

Omulamuzi omu yekka y’atakkaanyizza na banne. Olukiiko mwe baasaliddewo kino, Abalamuzi abaakuliddwa ssentebe w’ekibiina kya UJOA, Omulamuzi Godfrey Kaweesa baalutuuzizza ku kkooti enkulu.

Minisita w’ebyemateeka Maj. Gen Kahinda Otafiire yeetabye mu lukiiko luno nga Ssaabalamuzi Katureebe yakiikiriddwa akulira abalamuzi Dr. Yorokamu Bamwine.

Abalamuzi bagobye ekiwandiiko kya Gavt.

Okusinziira ku kiwandiiko kya gavumenti ekyaleeteddwa era ne kisomebwa mu lukiiko abalamuzi ne bakigoba, mu nkyukakyuka z’ensasula empya, Ssaabalamuzi yabadde waakwongezebwa okutuuka ku bukadde 26, omumyuka we obukadde 23, Principal Judge obukadde 21, abalamuzi ba kkooti ey’oku ntiko 19.9, aba kkooti ejulirwamu obukadde 19, aba kkooti enkulu obukadde 16.9 ate omulamuzi asembayo wansi afune obukadde 2.

Abawaabi b’emisango gya gavumenti okwediima, nabo baasooka kuwa gavumenti nsalessale mu June kyokka gavumenti yalinda ne bamala kwekalakaasa n’eryoka etunula mu nsonga yaabwe Wabula wadde abawaabi b’emisango gya gavumenti beekalakaasa, bbo abalamuzi basigala bakola.

Kitegeeza nti emisango emipya 114,807 egiri mu kkooti mu kiseera kino gattako n’emisango emikadde 378,772 gigenda kukandaalirira okutuusa ng’abalamuzi bazze ku mirimu.

Kaweesi yagambye nti essiga eddamuzi lye limu kwago 3 agakola gavumenti era nga Ssaabalamuzi wa Uganda akwata kifo kyakuna mu bukulu mu ggwanga kyokka kyewuunyisa nti abantu abali mu bifo bya wansi ennyo nga Jennifer Musisi owa KCCA bafuna omusaala Ssaabalamuzi gwatafunangako.

Musisi afuna obukadde nga 37 buli mwezi. Minisita Kahinda Otafiire yasabye abalamuzi okusigala nga bakkakkamu nti ensonga yaabwe agenda kujanjulira Kabineti.

Otafiire yagaanyi okweyama ddi ensonga zaabwe lwe zinnaakolebwako wabula n’abasaba bamuweeyo obudde asobole okutwala etteeka mu Palamenti ng’ekitongole ekiramuzi kyegerekera emisaala n’okuwandiika abakozi baakyo.

Akulira ekibiina omwegattira Bannamateeka ekya Uganda Law Council (ULS), Francis Gimara yagambye nti bateekateeka kutwala gavumenti mu kkooti olw’okuyisaamu amaaso essiga eddamuzi nga buli mwaka ekendeeza ssente z’ebagerekera mu bajeti kyokka ng’amateeka gabagaana okukola emirimu emirala egiyinza okubayimirizaawo.

Yagambye nti omwaka oguwedde essiga eddamuzi lyaweebwa omutemwa ga 0.6 ku 100 mu bajeti kyokka ng’omwaka guno zaatoolwako ne baweebwa ebitundu 0.4 ku 100 eza bajeti.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...