TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti esazeewo ku bagagga abakaayanira ebizimbe mu Kampala

Kkooti esazeewo ku bagagga abakaayanira ebizimbe mu Kampala

By Hannington Nkalubo

Added 26th July 2017

KKOOTI ensukkulumu erinnye eggere mu ntegeka z’omugagga Charles Muhangi okwezza ettaka lya paaka ya bbaasi n’ebizimbe bya bagagga banne ebibalirirwa mu buwumbi 100 byabadde yalangirira edda nti abibatwalako.

Qualicell1 703x422

Ekizimbe Muhangi ky’akaayanira ekisangibwa mu Kampala.

Bya HANNINGTON NKALUBO

KKOOTI ensukkulumu erinnye eggere mu ntegeka z’omugagga Charles Muhangi okwezza ettaka lya paaka ya bbaasi n’ebizimbe bya bagagga banne ebibalirirwa mu buwumbi 100 byabadde yalangirira edda nti abibatwalako.

Omuwandiisi wa kkooti ensukkulumu A. G Opifeni yategeezezza Charles Muhangi nti omusango ogwagobwa mu kkooti ensukkulumu gwasinziira ku kukkaanya okwali ekw’enjuyi zonna nga tewali kiragiro kyonna kyali kiteekeddwa kuweebwa Muhangi kimukkiriza kutwala ttaka wadde ebizimbe.

Kkooti ensukkulumu okuvaayo kiddiridde akagulumbo akaabaddewo ku bizimbe okuli ekya Qualicel Bus Terminal ekya Drake Lubega ne Nabukeera PLAZA eky’omugagga Manisoor Matovu (Yanga) ssaako ettaka okuli paaka ya Qualicel Bus Terminal.

 

Muhangi yayisa ebirango mu mawulire n’okukubisa ebipapula nti ebizimbe n’ettaka abyeddizza era n’alagira bannannyini maduuka bagende beeyanjule mu ofiisi ye n’ensimbi 200,000/- kubanga obwannannyini bwakyuse.

Ku Mmande, abamu ku basuubuzi batiisizza okwekalakaasa nga beemulugunya olw’ebirango ebyali bibabuzaabuza nga kigambibwa abamu baatuuka ne ku ddaala erigenda okweyanjula ewa Charles Muhangi.

Ng’abasuubuzi bagenda mu maaso n’okweyanjula ewuwe, Muhangi yawandiika ebbaluwa eri ssaabalamuzi wa kkooti ya Uganda nga July 10, 2017 nga yeemulugunya nti poliisi egaanye okumuyambako okweddiza ebizimbe n’ekibangirizi kya paaka ate ng’omusango yaguwangula.

Ssaabalamuzi yamuzzeemu ng’ayita mu muwandiisi wa kkooti ensukkulumu, A.G Opofeni eyamuwandiikidde (Charles Muhangi) nga ye nnannyini kkampuni ya Horizon Coaches ebbaluwa nga July 13, 2017.

Yamutegeezezza nti ekiragiro ky’omulamuzi omu kye yamuwa kyaggwako dda era tewali kiragiro kirala kkooti ky’eyinza kumuwa kimukkiriza kutwala ttaka wadde ebizimbe bya banne.

Ate omumyuka wa ssaabawolereza wa Gavumenti, Mwesigwa Rukutana olulabye ebbaluwa ya kkooti ensukkulumu naye n’awandiikira omuduumizi wa poliisi mu ggwanga ng’amutegeeza ensonga z’ezimu nti omusango ogwagobwa mu kkooti gwava ku kukkiriziganya okuva ku njuyi zonna.

Ebbaluwa ya Rukutana yagiwandiise nga July 21, 2017 ng’ekkaatiriza nti tewali kiragiro kiteekeddwa kussibwa mu nkola kitongole kya poliisi kubanga kkooti bwe yali egoba omusango tewali kiragiro kye yawa era nti embeera eteekwa okusigala nga bw’eri ku njuyi zonna nga ebizimbe n’ettaka tebikwatiddwaako.

 

Rukutana yalagidde poliisi nti ebizimbe n’ettaka tebiteekeddwa kuweebwa Muhangi kubanga tewali kiragiro kyonna kyaweebwa kkooti nsukkulumu.

Rukutana okuwandiikira Kale Kayihura kiddiridde omuduumizi wa poliisi ku CPS, Bakaleke okuwandiikira ekitongole ekiwolereza Gavumenti ng’akibuuza kibawabule oba waliwo ekiragiro kye bateekeddwa okussa mu nkola ku bwannannyini bw’ebizimbe n’ettaka Muhangi by’akaayanira.

Rukutana yawabudde nti tewali kiragiro era obwannannyini ku bizimbe bukyali bwa Drake Lubega ne Mansoor Matovu (Yanga).

MUHANGI; Charles Muhangi olwalabye ebbaluwa n’azikwasa abawabuzi be ne bazeetegereza.

Baamugambye nti zonna njingirire era tekuli wadde emu entuufu. Yagambye nti poliisi eteekwa okuvaayo eggule omusango ku bagagga banne olw’okujingirira ebiwandiiko.

“Oyo Drake Lubega ne bw’anaakola atya eryo ettaka nja kulimutwalako n’ebizimbe byonna ebiriko.

Kati mugeraageranya ng’omukyala alina olubuto oluwezezza emyezi mwenda.

Omukyala ne bw’akola atya ateekwa okuluzaala era ne Drake ne bw’anaakola atya ebyo ebintu byange era nze mmanyi nti obudde bwamuggwaako dda.

Wabula abamu ku baalabye ebbaluwa ya kkooti ensukkulumu n’eya Rukutana ezigambibwa okuba enjingirire, baategeezezza nti zaakyuusiddwa.

Olupapula olwabadde ku bbaluwa ya Rukutana lwaggyiddwaako ne lusibwa ku bbaluwa ya kkooti ne balyoka bazookyaamu.

Muhangi yagambye nti agenda kubaggulako emisango era asaba poliisi enoonyereze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bike3 220x290

Aba ddigi balwanira bubonero

Abavuzi bajja mu nsiike eno nga bali ku lutalo lw’akulwanira bubonero bubatuusa ku buwanguzi kuba kumpi buli mutendera...

Img3669webuse 220x290

Okwennyamira kwali kunnessizza...

Okusosolebwa n'okuyisibwamu emimwa kwe nayitamu olw'okuzaalibwa n'akawuka ka siriimu byannennyamiza katono nnette...

Ondup 220x290

Mbabazi asuddewo Onduparaka

Oluvannyuma lw'okubanja okumala ebanga, Livingstone Mbabazi asudde Onduparaka.

Ura12 220x290

Ssimu ne Ssimbwa basisinkanye mu...

Sizoni ewedde e Namboole URA yamegga Express ggoolo 1-0 eyateebwa Ronald Kigongo wabula omutendesi Ssimwogerere...

Cancerdrbalagadde2webuse 220x290

Abaana abafuna obulwadde bwa kookolo...

Abaana abalwala kookolo beeyongedde wadde nga ssinga bafunye mangu obujjanjabi bawona