TOP

Poliisi ekoze ekikwekweto e Lwengo

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2017

POLIISI y’ebidduka ku nguudo z’omu disitulikiti y’e Lwengo ekoze ekikwekweto ku mmotoka ne bodaboda ezitalina bisaanyizo n’ekwata bodaboda ezisoba mu 50 n’emmotoka 40.

Lwengo11 703x422

Poliisi y’ebidduka ng’ekebera emmotoka.

Bya FLORENCE TUMUPENDE

POLIISI y’ebidduka ku nguudo z’omu disitulikiti y’e Lwengo ekoze ekikwekweto ku mmotoka ne bodaboda ezitalina bisaanyizo n’ekwata bodaboda ezisoba mu 50 n’emmotoka 40.

Ekikwekweto kino kikulembeddwa akulira ebidduka mu disitulikiti, Reinhold Rwakirenzi ng’ayambibwako omuduumizi wa poliisi mu Lwengo Donald Muhwezi.

Kyayindidde ku kyalo Kyawagonya okumpi n’awaagwa akabenje akaafiiramu abantu 14 ku ntandikwa y’omwaka guno.

Bodaboda ezaakwatiddwa zaabadde tezirina mataala, abagoba baazo nga tebalina bikoofiira, n’ezitasiba bulungi ze bagamba nti zaabulabe eri abazikozesa.

Ate emmotoka ezaakwatiddwa ze zaabadde n’emipiira egiweddeko, ezitalina mataala, abavuga nga tebalina pamiti n’abalina enjingirire.

Abaserikale baasanze akaseera akazibu okukwata abaabadde bavuga emmotoka zino kuba obwedda bwe babayimiriza nga bazisuula ne n’adduka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo