TOP

Eyesse asoose kwetondera batuuze

By Musasi wa Bukedde

Added 27th July 2017

ABATUUZE bawuniikiridde bwe basanze munnaabwe eyabula ku Lwokutaano nga yafiira mu kidiba.

Letter1 703x422

Ebbaluwa Busuulwa ze yalese.

Bya Mukasa Kivumbi

ABATUUZE bawuniikiridde bwe basanze munnaabwe eyabula ku Lwokutaano nga yafiira mu kidiba.

Ekidiba kibadde kiwunya obutwa nga bulabika ne ku mazzi, ekiteeberezebwa nti bwe yanywa n’afa.

Terah Busuulwa 60, ow’e Nakatyaba mu disitulikiti y’e Buikwe ye yafudde.

Omulambo gwe gwalabiddwa abatuuze abaasoose okuzuula ebbaluwa gye yateresa munnaabwe ng’amugambye nti ajja kugimusaba.

Abatuuze baategeezezza nti, Busuulwa yakoma okulabwako ku Lwokutaano ng’alina gy’ava era n’agula obusera n’adda mu kayumba akatono ke yazimba mu nnimiro ng’asenguse mu maka ge w’abadde agamba nti ebizibu byagala kumuttirawo.

kitundu ku bbaluwa gye yaleseEkitundu ku bbaluwa gye yalese

 

Yalese abeetondedde Abatuuze bwe baasomye ebbaluwa omugenzi gye yalese, baakizudde nti yabadde ebeetondera olw’okusalawo okubi kwe yakoze nti kyokka embeera ye yamuwalirizza okukikola.

Ebbaluwa eno baagitutte ku LC. Amangu ago yagyongeddeyo ku poliisi.

Oluvannyuma baabakanye n’okunoonya omulambo gwe we guyinza okubeera.

Baagenze ku luggi lw’akayumba ke yazimba mu nnimiro, nga taliimu, kwe kuserengeta mu nnimiro gye baasanze omulambo gwe mu kinnya ky’amazzi ga bbulooka.

 usuulwa bwabadde afaanana Busuulwa bw’abadde afaanana.

 

Abatuuze baategeezezza nti, Busuulwa ebizibu byamusukkako n’ava mu maka ge n’azimba akayumba akalinga ak’abato mu nnimiro ne yeewogoma eyo.

Baagasseeko nti, yali abeera ne mukazi we mu nju kyokka ng’omukazi asula mu kisenge ky’abaana era ng’omusajja asula yekka.

Bagamba nti n’emmere yali agyefumbira nga tewali amufaako.

Muganda w’omugenzi, Nsereko Basajjakubula yategeezezza nti, wabaddewo obubonero bungi obulaga nti muganda we tabadde bulungi olw’embeera gy’abadde ayisibwamu awaka, kye yava asengukira mu nnimiro.

Yawunzise agamba nti, afudde bizibu by’amaka kyokka wateekwa okubaawo eyamusse.

Poliisi yakkirizza abooluganda okuggyayo omulambo okuguziika. Nnamwandu, Betty Namande yagambye nti, babadde baakamala n’omugenzi emyaka 30 ne bazaala abaana babiri.

Yagasseeko nti, wadde yasenguka, olumu abadde ajja awaka abaana ne bamuwa emmere n’agirya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...