TOP

Ebintu by’omusajja bye yabbye bimukwasizza

By Eria Luyimbazi

Added 27th July 2017

POLIISI ya CPS ekutte omukazi eyabbye ebintu bya muganzi we n’abitunda oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya.

Namitala1 703x422

Omuserikale ng’atwala Namitala ku poliisi ya CPS.

Bya Eria Luyimbaazi
 
POLIISI ya CPS ekutte omukazi eyabbye ebintu bya muganzi we n’abitunda oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya.
 
Sandra Namitala 22, ow’e Nabbingo yakwatiddwa poliisi ya CPS oluvannyuma lwa Akram Ssentamu akolera ku kizimbe kya Energy Centre ng’abeera Makerere okumutwala ku poliisi ng’amulumiriza okubba ebintu bye n’abitundu.
 
Ssentamu yagambye nti Namitala yamuggya mu bbaala ya Top Pub n’amutwala awaka nga June 4, 2017, kyokka bwe yalaba avuddeewo n’amubba ebintu omuli, ttivvi, ekyuma ekirongoosa kapeti, DVD ne 250,000/-.
Sentamu yagambye nti aludde ng’anoonya Namitala nga yaggulawo omusango gw’obubbi ku fayiro nnamba SD 22/06/06/2017 era yabadde atambula mu Kampala n’amugwako kwe kuyita abaserikale ba poliisi ya CPS abaamukutte.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....