TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Zari ateze kitaawe wa Ssemwanga obulippo ku byobugagga by’omugenzi

Zari ateze kitaawe wa Ssemwanga obulippo ku byobugagga by’omugenzi

By Martin Ndijjo

Added 28th July 2017

‘Luyinda asaana akimanye nti eby’e Kampala birala n’eby’eno birala ebintu tabisobola abyesonyiwe, tajja kumalako nange,’’ Zari bwe yalabudde.

Zaritlale1 703x422

Zari

Bya MARTIN NDIJJO

ZARI ateze kitaawe wa Ivan Ssemwanga omuto, mzee Herbert Luyinda akalippo ku by’obugagga by’omugenzi, era nga bakyagenda mu maaso n’okuttunka.

Luyinda yagenze bukubirire e South Africa asobole okutaakiriza ebyobugagga bya mutabani we omugenzi Ssemwanga oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti Zari kye yeekola nkoko baana ng’atandise okubitunda nga bw’acakala ne bba omuyimbi Diamond Platnamuz.

Kyokka mukulu Luyinda ebintu byatuuse ne bimusobera era ne birabika nti si byangu nga bwe yasoose okulowooza bwe yakizudde nti bwe batakwata bulungi nsonga zino, ebyobugagga bwa Ssemwanga byonna biyinza okutwalibwa.

Kye yasoose okuzuula, kwe kuba nti ebyobugagga bino Ssemwanga yabiwandiisa mu mannya ga Ali Ssennyomo n’olwekyo aba famire bateekeddwa okukakasa nti Ivan Ssemwanga y’omu ye Ali Ssenyomo.

Ssemwanga yawalirizibwa okukyusa amannya ne yeetuuma Ali Ssennyomo olw’emisango gye yazza mu South Africa n’asooka adda mu Uganda n’afuna ebiwandiiko ebipya nga biraga nti ye Ali Ssennyomo olwo n’addamu n’alumba buto n’aggulawo bizinensi z’amasomero ng’akozesa amannya amapya.

Eky’okukyusa amannya kyalanze ne kituuka ne ku baana ba Ssemwanga nga famire ya ya Mzee Luyinda erina okukakasa nti Ssemwanga y’omu ne   Ssennyomo era omuntu ono y’omu y’azaala abaana Ssemwanga be yaleka.

Wano Zari we yalabulidde aba famire ya Ssemwanga ensonga zino okuzigendako empola kubanga bayinza okwagala okugabana ebintu by’omugenzi, ne bamaliriza nga buli kimu bakifiiriddwa era nga baviiriddemu awo.

 baana bomugenzi Abaana b’omugenzi

 

ZARI YEEWAANYE

Zari yeewaanye nti ye yekka ayinza okugonjoola ensonga zino era teyandyagadde muntu yenna amutawaanya kubanga ne bwekiba kyetaagisa kutwala baana ku musaayi, mwetegefu okubatwalayo okukakasa nti y’abazaala mu Ssemwanga eyakyusa erinnya ne yeeyita Ssennyomo.

Yasekeredde Mzee Luyinda nti ebyo by’aliko eby’okussaawo akakiiko e South Africa kalabirire eby’obugagga by’omugenzi, bya kwerimba.

‘Omukulu asaana akimanye nti eby’e Kampala birala n’eby’eno birala ebintu tabisobola abyesonyiwe, tajja kumalako nange,’’ Zari bwe yalabudde.

Wabula omu ku booluganda ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti kati kye beeraliikirira, be bakozi mu masomero ga Ssemwanga okusalawo okwekubira enduulu mu Gavumenti eyingire mu nsonga zino olw’enkaayana eziriwo baleme kufiirwa mirimu.

Yalabudde nti ssinga Gavumenti eyingirawo, esobola kunoonyereza ebyaliwo era bwe kizuula nti omuntu ayitibwa Ivan Ssemwanga gwe yanoonyako ng’omumenyi w’amateeka ate ye yakyusa amannya n’atandika amasomero nga yeeyita Ssennyomo.

Wabula Mzee Luyinda yatangaazizza nti si kituufu nti ayagala kweddiza bintu wadde nga waliwo abakimusibako nti agezaako okukozesa akavuyo akali mu kukyusa amannya ayite mu kkooti asabe obuyinza okuddukanya ebintu bino.

Luyinda yagambye nti ye alina ebyobugagga ebimumala naye ekyamututte e South Africa kutaasa bintu bya mutabani we na bazzukulu be n’okulaba nti famire etereera eggweemu okulumagana olw’ebintu by’omugenzi.

 

MUNNAMATEEKA ANNYONNYODDE

Munnamateeka w’omu Kampala, Isaac Walukagga awabudde nti okukyusa amannya omuntu akikola ayise mu mateeka era bwe kiba nti Ssemwanga teyayita mu mateeka, abooluganda lwe be balina okuwa kkooti obujulizi obukakasa nti Ivan Ssemwanga ye muntu y’omu ye Ali Ssennyomo.

Wabula yagambye nti tamanyi mateeka ga South Africa bwe galamula ku nsonga eno naye mu Uganda, okukyusa amannya olina kuyita mu tteeka erirambike era weeriri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...