TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Aba NRM e Butuluuki beeyamye ku kulwanyisa obubenje mu Uganda

Aba NRM e Butuluuki beeyamye ku kulwanyisa obubenje mu Uganda

By Musasi wa Bukedde

Added 29th July 2017

BANNAKIBIINA kya NRM e Butuluuki (Turkey) beeyamye okuyamba poliisi ya Uganda mu kaweefube gw’eriko okulwanyisa obubenje era bawaddeyo obukooti obumasamasa obugenda okugabirwa aba poliisi ne bodaboda basobolwe okwegerezebwa nga bali ku nguudo naddala ekiro.

Pa 703x422

Ssentebe wa NRM e Butuluuki , Hussein Wasswa (ali wakati) ne banne nga balaga obukooti bwe baawaddeyo okutangira obubenje

Mu kiseera kye kimu bannakibiina b’e Butuluuki balabudde abantu abagezaako okubasiiga enziro nti basekeeterera gavumenti ya NRM ne bagamba nti ago malindirizi ageenonyeza ebyabwe kuba bbo bennyini be batunda gavumenti mu mawanga g’ebweru.

Ssentebe wa NRM e Butuluuki , Hussein Wasswa, y'ategeezezza bino n’agamba nti abantu bano (ababasiiga enziro) nti be baakwata kaada za bammemba baabwe ne bagenda nga bazisasaanya ku mikutu gya yintanenti okubasiiga enziro.

 asswa ne banne nga balaga obujaketi bwe baawaddeyo okuyambako okukendeeza obubenje Wasswa ne banne nga balaga obujaketi bwe baawaddeyo okuyambako okukendeeza obubenje

Bino baabituukiddeko mu lukung’ana lwabwe olwatudde   mu ggwanga eryo ku Lwokuna  lwa wiiki eno olwakubiriziddwa Hussein Wasswa, okusinziira ku mawulire agaafuniddwa okuva e Butuluuki.

Mu lukiiko luno mwe baayisiriza ekiteeso ekyebaza ssentebe waabwe ow’ekiseera akulira NRM mu mawanga g’ebweru gonna, Patrick Asiimwe  olw’enkulaakulana gy’abatuusizzaako era ne beeyama okugenda maaso n’okmuwagira.

Omwogezi wa NRM ow’ekiseera ebweru w'eggwanga, Moses Kimuli, yagambye nti entegeka z’okulonda abakulembeze b’ekibiina zitambula bukwakku era wateereddwaawo akakwakkulizo  nti abaagala okwesimba ku bwassentebe bw’ekibiina balina okuba n’obuyigirize bwa ssiniya ey’omukaaga.

 asswa ngalaga obujaketi obwaweereddwaayo Wasswa ng'alaga obujaketi obwaweereddwaayo

Kyokka n’agamba nti abagenda okwesimba ku bifo ebimu balina okutunuulirwa enkaliririza kitangire ab’oludda oluvuganya okubayingiramu.

Yagumizza aba NRM e Butuluuki nti tewali baabyakwerinda babagoberera kuba ebintu byonna bye bakola bimanyiddwa.

‘’Ffe tulwanyisa abo abaagala okutabangula Uganda,’’ Kimuli bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Baby 220x290

Eyanzaalamu n'annemya emisomo anneefuulidde...

NZE Judith Kyampiire 22, mbeera mu Good Hope Makerere Kavule mu Munisipaali y’e Kawempe.

Ssenga1 220x290

Maze omwaka mulamba sirwala

NNINA emyaka 27 naye maze omwaka gumu nga sirwala era sifuna lubuto. Osobola okunfunira ku ddagala ne ntandika...

Ronaldo 220x290

Ronaldo yandikomawo ku mupiira...

Ronaldo okutuula ogwa Young Boys olwo akomewo ku gwa ManU.

Pavon 220x290

Arsenal etandise enteeseganya ne...

Pavon yazannyira Argentina mu World cup mu June omutindo gwe ne gucamula ttiimu nnyingi.

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...